TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Coronavirus: Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya

Coronavirus: Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2020

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya ku ssennyiga omukambwe lw’azzizza ku lwa coronavirus alert olubadde lwakasaanikira eggwanga n’okutuuka mu nsi yonna.

Bobiwinehavingamusicalmomentwithsingingpartnernubian 703x422

Bobi Wine ne Nubian Lee nga bayimba gye buvuddeko

Oluyimba lwe yatuumye “Alone together”, yaluyimbye n’abaali Bapulezidenti b’amawanga ga Afrika 12 n’abakyali mu ntebe babiri kwe yatadde abanene abakulu abalala abaasusse mu 10.

“Alone together” baakiggye ku mbeera ya kalantiini nga buli muntu asabibwa okubeera yekka kyokka ng’ate buli omu alina okukolera awamu n’abalala okulwanyisa ssennyiga ono.

Wadde ng’abanena abalimu si bayimbi, baagezezzaako okuyimba buli omu akatundu ke yasobodde abamu kigambo kimu ate abalala ng’eyali Katikkiro wa Kenya, Raila Odinga baalabise mu vidiyo nga beenyenyaamu bwenyeenya.

Mwabaddemu abayimbi ab’amannya nga Robin Auld, Schalk Joubert omukubi wa ggita era y’omu ku baasinze n’okuyimba mu luyimba, Lumanyano Unity Mzi mukubi wa ng’oma kw’agatta Amuta Stone ow’e Nigeria.

Mu luyimba mulimu ne Greg Mills ow’e South Afrika era nga wadde Bobi Wine ku mukutu gwe ogwa ‘facebook’ yalaze nti naye muyimbi, omukutu gwa ‘Wikipedia’ gumulaga nti y’akulira ekitongole kya Brenhurst Foundation ekyamuyunze ku banene be yatadde mu luyimba olwo.

Brenthurst kitongole ekirina ekitebe mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika nga kikolera mu Afrika ne South Amerika okwongera amaanyi mu by’enfuna by’abantu n’abalina bu bizinensi obutono.

Kirimu abatetenkanya embeera ne bagissaawo okukyusa obulamu bw’abantu era mu kiti ekyo mwe kyateeredde obumanyirivu bwakyo mu kugatta Bobi ku banene okusomesa abantu akabi akali mu ssennyiga omukambwe.

Omukutu ogwo era gulaga nti omu ku bantu abaabadde mu luyimba olwo, Olusegun Obasanjo eyali Pulezidenti wa Nigeria okuva 1999 okutuuka 2007, naye mmemba wa kibiina.

Ali Buken amanyiddwa nga Nubia Li ayimba ne Bobi Wine yagambye nti ekitongole ekyo kye kyatuukiridde Bobi Wine ne bamusaba okukolagana ku by’oluyimba olwo. Abakulembeze abalala abaali mu luyimba luno

l Eyali Pulezidenti wa Liberia, Johnson Sirlief Eyali owa Sierra Leone, Ernest Bai Koroma l Pulezidenti wa Liberia, George Weah

l Eyali owa Malawi, Joyce Banda l Eyali owa Burundi, Pierre Buyoya Eyali owa South Africa, Kgalema Motlanthe (Yali Pulezidenti wakati wa 2008 ne 2009 nga Thabo Mbeki alekulidde).

l Pulezidenti wa Somalia Muse Bihi Abdi l Eyali Pulezidenti wa South Africa ey’obusosoze FW de Klerk era eyasembayo mu beeru abaali bafuga eggwanga eryo nga Nelson Mandela tanatuula mu ntebe mu 1994.

l Eyali Katikkiro wa Ethiopia Hailemariam Desalegn Eyali Pulezidenti wa Malawi, Salous Chilima. l Minisita w’ebyensimbi mu Lesotho, Moeketsi Majoro.

l Omulangira Mangosuthu Buthelezi, abalala ye; Helen Zille, Makhosi Khoza, Patrice de Lille, Mmusi Maimane, Bishop Precious Omuku, Alan Winde, Hakainde Hichilema, Lindiwe Mazibuko, Erastus Mwencha, Wilmot James, Mcebisi Jonas, Tendai Biti, Cardinal Wilfrid Napier ne Dan Magic.

Bonna baasindise ebitundu byabwe mu luyimba ne bigattibwa wamu mu Uganda nga pulodyusa Dan Magic ye yakoze omulimu ogwo oluvannyuma ne luweerezebwa ab’ekitongole kya Brenhurst Foundation e South Afrika abaalumalirizza ne balufulumya okusinziira ku Nubian Li.

Abakubi b’ebyuma e South Afrika nga Schalk Joubert akuba ggita eya bbeesi, beenyigidde mu kuyimba era bw’ogatta ebya Bobi n’ebibye mu vidiyo, bikwatagana bulungi.

Abamu baalabikidde bulabisi mu vidiyo nga kirabika nti bwe bakkirizza ekigendererwa ky’oluyimba ne bassibwamu. Bobi w’aleetedde olulala ku ssennyiga ono ng’abayimbi abalala bangi baleese ennyimba. 

zinensi obutono. Kirimu abatetenkanya embeera ne bagissaawo okukyusa obulamu bw’abantu era mu kiti ekyo mwe kyateeredde obumanyirivu bwakyo mu kugatta Bobi ku banene okusomesa abantu akabi akali mu ssennyiga omukambwe. Omukutu ogwo era gulaga nti omu ku bantu abaabadde mu luyimba olwo, Olusegun Obasanjo eyali Pulezidenti wa Nigeria okuva 1999 okutuuka 2007, naye mmemba wa kibiina. Ali Buken amanyiddwa nga Nubia Li ayimba ne Bobi Wine yagambye nti ekitongole ekyo kye kyatuukiridde Bobi Wine ne bamusaba okukolagana ku by’oluyimba olwo. Abakulembeze abalala abaalLI MU LUYIMBA LUNO l Eyali Pulezidenti wa Liberia, Johnson Sirlief Eyali owa Sierra Leone, Ernest Bai Koroma l Pulezidenti wa Liberia, George Weah l Eyali owa Malawi, Joyce Banda l Eyali owa Burundi, Pierre Buyoya Eyali owa South Africa, Kgalema Motlanthe (Yali Pulezidenti wakati wa 2008 ne 2009 nga Thabo Mbeki alekulidde). l Pulezidenti wa Somalia Muse Bihi Abdi l Eyali Pulezidenti wa South Africa ey’obusosoze FW de Klerk era eyasembayo mu beeru abaali bafuga eggwanga eryo nga Nelson Mandela tanatuula mu ntebe mu 1994. l Eyali Katikkiro wa Ethiopia Hailemariam Desalegn Eyali Pulezidenti wa Malawi, Salous Chilima. l Minisita w’ebyensimbi mu Lesotho, Moeketsi Majoro. l Omulangira Mangosuthu Buthelezi, abalala ye; Helen Zille, Makhosi Khoza, Patrice de Lille, Mmusi Maimane, Bishop Precious Omuku, Alan Winde, Hakainde Hichilema, Lindiwe Mazibuko, Erastus Mwencha, Wilmot James, Mcebisi Jonas, Tendai Biti, Cardinal Wilfrid Napier ne Dan Magic. Bonna baasindise ebitundu byabwe mu luyimba ne bigattibwa wamu mu Uganda nga pulodyusa Dan Magic ye yakoze omulimu ogwo oluvannyuma ne luweerezebwa ab’ekitongole kya Brenhurst Foundation e South Afrika abaalumalirizza ne balufulumya okusinziira ku Nubian Li. Abakubi b’ebyuma e South Afrika nga Schalk Joubert akuba ggita eya bbeesi, beenyigidde mu kuyimba era bw’ogatta ebya Bobi n’ebibye mu vidiyo, bikwatagana bulungi. Abamu baalabikidde bulabisi mu vidiyo nga kirabika nti bwe bakkirizza ekigendererwa ky’oluyimba ne bassibwamu. Bobi w’aleetedde olulala ku ssennyiga ono ng’abayimbi abalala bangi baleese ennyimba era

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki

Lip1 220x290

Beekalakaasizza ku bya poliisi...

Beekalakaasizza ku bya poliisi okutta Omuddugavu

Kat1 220x290

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde...

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde okubijja