TOP

Coronavirus: Baminisita 3 bayomba

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2020

Olutalo olugambibwa okuba wakati wa baminisita basatu nga luva ku ssennyiga wa coronavirus luvuddeyo mu lujjudde ne bawalirizibwa okwennyonnyolako ku bigambibwa nti baakozesa ebifo byabwe okumenya ebiragiro bya Pulezidenti ku kulwanyisa coronavirus.

Ministernakiwalakiyingi 703x422

Bakissa ku Minisita Florence Nakiwala Kiyingi nti yakozesa ekifo kye n’aggya bba Deogratius Kiyingi ku kisaawe e Ntebe ng’ava ebweru n’agenda eka mu kifo ky’okumutwala mu kifo awakuumirwa bonna abava ebweru okumala ennaku 14.

Minisita omubeezi ow’ebyobugagga by’omu ttaka, Sarah Opendi bamulumiriza nti yakima bba Artikins Katusabe (mubaka wa Palamenti akiirira Bukonjo West, Kasese, e Ntebe ng’akozesa ekifuba n’amuggya mu kalantiini.

NAKIWALA AVUDDEYO

Minisita Nakiwala Kiyingi yategeezezza Bukedde eggulo nti kituufu bba Deogratius Kiyingi yagenda e South Africa nga March1, 2020 n’akomawo nga March 7.

Kyokka yali n’ababaka ba palamenti abalala abatuula ku kakiiko ka ssayansi ne tekinologiya. Bonna bakkirizibwa sipiika okugenda. N’agamba nti ye teyagenda ku kisaawe Ntebe kunona bba era talinnyangako Ntebe omwaka guno.

Wabula yakubira essimu Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng ng’ayagala okumuluh− hamya ku kikolebwa omuntu ava ebweru.

“Minista yanziramu nti naye yali wamu ku nnyonyi ne Kiyingi n’ababaka abalala. Era okuva South Africa bwe taali limu ku mawanga ageekengerwa kyali tekyetaagisa kugenda mu kalantini,” Nakiwala bwe yategeezezza

Yannyonnyodde nti ye ne bba baasalawo ku lwabwe omwami aleme kutambula abeere waka okumala ennaku 14.

Oluvannyuma Mw. Kiyingi yakeberebwa abakugu mu minisitule y’ebyobulamu ne bamuwa satifikeeti ekakasa nti talina corona. Nakiwala yagambye nti ng’omuntu w’obuvunaanyizibwa yeebuuza ku Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda naye eyamuwa amagezi ge gamu ga Mw. Kiyingi kukeberwa Abeebyobulamu.

SARAH OPENDI

Ensonga za Opendi zaatuuse mu Palamenti ku Lwokusatu era Opendi n’agamba nti waliwo olutalo olw’amaanyi era abamulwanyisa be basazeewo okukozesa ekya corona okumusaanyaawo.

Yagambye nti abamulwanyisa baamutandika akyali Minisita omubeezi ow’ebyobulamu gye yali akola ne Dr. Jane Ruth Aceng nti era abamulwanyisa ne beeyongera  okuwera ng’atandise okulwanyisa be yayise Bamafia abali mu birombe bya zzaabu e Mubende.

Yannyonnyodde nti ebintu bya bba yalabira awo nga biranda era yalabira awo ng’afuna essimu okuva mu maka g’obwapulezidenti era yalabiraawo nga Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda amuyise okubimubuuza.

Era ekyaddirira kumugaana kwetaba mu lukiiko lwa kabineti nga bamwekengera okuba ne corona ate abalala nga bamunyiigidde nti yakozesa ekifuba okuggya bba mu kalantiini, kye yagambye nti si kituufu.

Yagambye nti bba yakomawo mu ggwanga nga March 15, 2020 era mu kiseera ekyo, kalantiini teyali ya buwaze. Era n’aweebwa amagezi yeekuumire awaka okumala ennaku 14.

Bwe zaggwaako yeekebeza wamu n’aba ffamire yonna nga ne Opendi mw’omutwalidde ne kizuulwa nti tebalina corona.

Yagambye nti ebimutuseeko bikoleddwa ne ku bantu abalala be balwanyisa n’anokolayo Nakiwala Kiyingi nti naye atudde ku maggwa nga bagamba nti yatolosa bba mu kalantini.

N’agamba nti okumanya luno lutalo lwennyini, bba wa Nakiwala ennyonyi kwe yajjira kwe kwali ne Minisita Aceng nga bombi baava South Africa, kyokka Aceng tagendangako mu kalantini era tewali akyogerako.

Kigambibwa nti Opendi ne Achieng baalina akakuubagano ak’amaanyi nga bombi bali mu Minisitule y’ebyobulamu era okubaawula Opendi ne bamusindika mu byobugagga eby’omu ttaka kyayamba okukendeeza ku kukoonagana okwaliwo.

Opendi yagambye nti ye mwetegefu okulekulira Obwaminisita ssinga baleeta obujulizi obukakasa nti yatolosa bba mu kalantini.

Minisita Aceng era atangaazizza ku bimwogerwako nti naye yamenya amateeka ga kalantiini bwe yatambula n’agenda e South Africa kyokka bwe yakomawo e Ntebe yayitawo buyisi n’adda ewuwe era okuva olwo akakkalabya mirimu nga tagenze mu kalantini y’ennaku 14.

Yagambye nti kituufu yagenda e South Africa nga March 1, n’akomawo era mu kiseera ekyo embeera yali tennayonooneka nga South Africa teri mu mawanga ag’obulabe.

Wadde embeera yali bwetyo, ye ng’omuntu w’obuvunaanyizibwa yakola buli ekyetaagisa okukakasa nga mulamu talina coronavirus ky’ava agenda mu maaso n’okukakkalabya emirimu gye. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda