TOP
  • Home
  • Amawulire
  • A Pass yeegobye mu luyimba lwa Bebe Cool olwa Corona

A Pass yeegobye mu luyimba lwa Bebe Cool olwa Corona

By Martin Ndijjo

Added 3rd April 2020

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi era nti yalemesezza oluyimba lwabwe okufuuka hiti.

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa  ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi era nti yalemesezza oluyimba lwabwe okufuuka hiti.

Ono kati ayagala oluyimba luddibwemu nga Fresh daddy talimu oba sikyo ekitundu ye kyayimba kiggyibwemu.

Oluyimba luno olugendereddwaamu okusomesa n'okukubiriza abantu okwewala okukwatibwa ssennyiga omukambwe owa COVID-19 lulimu n'abayimbi abalala okuli; Vinka, Fresh Kid, Azawie, Paper Daddy ne John Blaq.

 

A Pass agamba Bebe Cool we yamutuukirira n'ekirowoozo ky'okukola oluyimba ku coronavirus ng'ali wamu n'abayimbi abalala, yakyaniriza era nasituukiramu okugenda ku situdiyo ya Bebe Cool okuteekamu amaloboozi ge mu luyimba luno.

"Saamanya nti mu bayimbi abalala Bebe Cool bayogerako mwe muli ne Fresh daddy. Olunaku lwe nagenda ku situdiyo okukwata amaloboozi gange omusajja oyo (ategezza Fresh daddy) namulabako awo nga ndowooza azze kulambula kifo kubanga situdiyo mpya naye kyanewuunyisa okuwuuliriza oluyimba nga luwedde nga naye mwali."

Yagasseeko nti "Bebe Cool nkuwa ekitiibwa naye njagala okimanye nze ndi muyimbi wa ggwanga siyimba na bakadingo nga Fresh Daddy. Gwe tewebuuza lwaki oluyimba olulimu abayimbi abamannya terukubwa nnyo? Yandibadde hiti buli wamu naye lwa Fresh Daddy.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono