TOP

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2020

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus.

Hell 703x422

Ow’ebyobulamu (ku ddyo) ng’akebera abamu ku basuubuzi abaasangidwa nga bayingira mu katale k’e Nakasero.

Gavumenti etaddewo kampeyini
etuumiddwa “TONSEMBERERA”
mw’eneeyita
okutangira okusaasaana kwa
ssennyiga wa coronavirus.
Kampeyini yalangiriddwa
Minisita w’Ebyobulamu Dr.
Jane Ruth Aceng eggulo
ng’ayogera eri eggwanga ku
nteekateeka z’okulwanyisa
coronavirus.
Yagambye nti okuva nga
March 21, 2020, lwe baazuula
Munnayuganda eyasooka
okukwatibwa coronavirus
abantu abaakazuulwa nga balina
ssennyiga ono bali 44. Era
Uganda tennafiirwayo muntu
yenna.
Minisita era yayongedde
okuggumiza n’okulambulula
ebiragiro 23 ebyalangiriddwa
Pulezidenti okutangira ssennyiga
okusaasaana, n’agamba
nti bataddewo kampeyini
ya “TONSEMBERERA” ejja
okukozesebwa okusaasaanya
amawulire mu bantu
nga beeyambisa buli mukutu
okuli essimu, obubaka bw’oku
ssimu(SMS), emikutu gya
yintaneeti oba ‘social media’,
leediyo, ttivvi n’empapula
z’amawulire.
Wassiddwawo ennamba
z’essimu eziyitamu amangu
okutuuka ku bakugu ba
Minisitule y’Ebyobulamu. Ennamba
kuliko;
919, 0800100 066, 0800 203
033, 0800 303 033 ne whatsApp
0770 818 139.
Ababeera mu Kampala
babasaba okukozesa ennamba
zino; 0800 990 000 ne 0204
660 816.
Minisita yasiimye Pulezidenti
okussaawo ebiragiro
okutangira ssennyiga okusaasaana.
N’asiima Bannayuganda
okugoberera ebiragiro
n’okulaga okufaayo gattako
abo bonna abaliko bye bakoze
okuli abasawo n’ebitongole
by’ebyokwerinda.
Yalambuludde ebikoleddwa
okuva nga December 31, 2019,
ssennyiga lwe yalangirirwa
e China omuli ebiragiro bya
pulezidenti okussaawo kafiyu,
okussaawo ebifo omukuumirwa
n’okukebera ssennyiga
n’okugaana oba okukugira
abantu okutambula.
N’annyonnyola nti ebiragiro
byabadde byetaagisa okutangira
ssennyiga okusaasaana
kubanga ffe nga Uganda
tetulina busobozi kujjanjaba
bantu bangi ssinga tubalinda
okumala okulwala tulyoke
tubajjanjabe.
Gavumenti egasse abasawo
okuva mu UPDF 80 ku ttiimu
y’abasawo eyamba okujjanjaba
abantu. Batandise okuwandiika
abasawo 200 nabo beegatte
ku ttiimu eyo. Bofiisa ba
UPDF okuli; Brig. Gen. Stephen
Kusasira ne Dr. Kyobe
bakulembeddemu olutalo
lw’okulwanyisa ssennyiga.
Yalangiridde nti okukebera
n’okukola ku bya coronavirus
bizziddwa ku disitulikiti. Era
okwanguyiza abantu okuyambibwa
wassiddwawo essimu ze
bayinza okukuba oba okugenda
obutereevu mu malwaliro
agabaliraanye mu bitundu
bybawe.
Wassiddwawo ambyulensi
mu buli kitundu okuyamba
okwanguya abalwadde. Okwo
gattako emmotoka za Gavumenti
ezissiddwa ku bitebe bya
disitulikiti nga zivunaanyizibwa
ba RDC n’abakulira ebyobulamu.
Yalagidde abakola ku
byobulamu okuwa enkizo
abakyala abali embuto oba
abagenda okuzaala nga bakozesa
ku mmotoka ezissiddwawo.
Enteekateeka endala
ez’ebyobulamu okuli okugema
abaana, okujjanjaba abalwadde
ba siriimu ne TB (akafuba)
zonna zirina okugenda mu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono