TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emmere etabudde omukozi wa KCCA n'alumako mulirwana we omumwa

Emmere etabudde omukozi wa KCCA n'alumako mulirwana we omumwa

By Moses Lemisa

Added 4th April 2020

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko ne bakukuba kujula kumutta .

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 703x422

Tom Anguzo 21 omutuuze w’omu Kibe zooni ng’akola ku mmotoka za KCCA ezisomba kasasiro ye yalumyeko muliraanwa we Ramula Nakanwagi (49) omumwa ng’amulanga okusindiika omwana okubba emmere ye gye yagambye nti ennaku zino okugifuna si kyangu!

 

Nakanwagi yategeezezza nti oluyombo lwatandiisi ku Lwakubiri nga Anguzo abakolako effujjo n'agamba nti kino azze akikola ku buli mupangisa ng’abalangira nti banaku ye alina obusobozi obubalabirira okumala omwaka.
Yagasseeko nti ku Lwokusatu Anguzo yakubye omwana we empi ng’agamba nti abadde agenda kubba mmere ye bwe baamunenyezzako we yakwatidde Shakira Namirembe 20 muwala wa Nakanwagi n'amukuba bubi ekyamuwalirizza okutaasa omwana we kyokka Anguzo obuufu n'abuzza ku Nakanwagi okukkakkana ng’amulumyeko omumwa.
Abatuuze mu kutaasa Nakanwagi baakubye Anguzo kwagala kumutta nga bagamba abayitiriddeko okubakola efujjo , Nakanwagi yaddukidde ku Poliisi y’oku kaleewe nagulawo omusango, Namirembe yagambye nti singa abatuuze tebaayanguye kutaasa nnyina ku Anguzo yabadde amaliridde okumutuga.
Nakanwagi yagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD REF: 20/01/04/2020.

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono