TOP

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2020

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Sit114 703x422

Ssaabaminisita Dr Ruhakana Rugunda ng'asimbulka emmotoka ezitwala emmere mu bantu

Bya Stuart Yiga

GAVUMENTI kyadaaki etongozza okutandika okuwa abantu abali mu bwetaavu emmere omuli kkiro z'akawunga ka kasooli mukaaga, n'ebijanjaalo kkiro 3, eri buli muntu ali mu bwetaavu.

Ssaabaministita Dr. Ruhakana Rugunda, y'atongozza kaweefube ono ng'asinziira ku ofiisize mu Kampala leero

Ategeezezza nti obuyambi buno bwakuweebwa oyo yekka gwe banaasanga ng'ali mu maka ge, so si bantu bakungaanye.

Agamba nti kino bakikoze okwewala abantu okukwatibwa ekirwadde kya Corona, kubanga ayagala nnyo abantu ababa bakungaanye nga bangi.

Okugaba emmere kutandikidde Bwaise, ekimu ku bifo mu Kampala ekisangibwa mu Divisoni y'e Kawempe.

"Gavumenti yasazeewo buli muntu ali mu bwetaavu aweebwe obuyambi buno, wabula nga essira ligenda kuteekebwa nnyo ku balwadde abali mu malwaliro ag'enjawulo okwetoloola eggwanga lyonna wamu n'ababeera mu nkambi z'ebitongole by'ebyokwerinda," Rugunda, bwe yagambye.

Asabye abasobola okubaduukirira baveeyo nga Omusuubuzi Hamis Kiggundu, bwe yakoze n'abawa obukadde bw'ensimbi za Uganda 100, zibayambeko mu kaweefube w'okuliisa abantu gwe baliko.

Hamis, obuyambi buno abuyisizza mu kibiina kye ekya Ham Foundation, era nga teyasuubizza ssente yaziwaddeyo mu mpeke.

Bw'abadde awaayo obuyambi buno, omuggagga Hamis, ategeezezza nti, "Kino kyekiseera buli alina ky'alina okuvaayo ayambe bannayuganda bannaffe mukaseera nga kano bwe beetaagira obuyambi."

Ye Minisita avunaanyizibwa ku bigwa bitalaze, Musa Ecweru, yategeezezza nti kumulundi guno, ab'ebyokwerinda be bagenda okuwoma omutwe mu kugaba emmere nga bayambibwako abakulembeze b'ebyalo.

Kinajjukirwa nti obuyambi buno newankubadde babutongolezza mu Kampala, bugenda kutuuka ku buli muntu ali mu bwetaavu ne mu madisitulikiti amalala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono