TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Golden Impact SC bassatira lwa nnannyini lya kisaawe kuzimbamu mayumba

Aba Golden Impact SC bassatira lwa nnannyini lya kisaawe kuzimbamu mayumba

By Herbert Musoke

Added 6th April 2020

ABADDUKANYA, abazannyi n’abawagizi ba ttiimu ya Golden Impact SC, bali mu kasattiro olwannannyini ttaka okubadde ekisaawe kya ttiimu yaabwe okutandka okukizimbamu amayumba nga mu kiseera kino tebamanyi kiddako.

32c00c8c033e4f468f233fe99c96083f 703x422

Ekisaawe kino kisangubwa ku kyali Kyungu, mu Mukono ng’akulira ttiimu eno, Samuel Odongo agamba nti bamaze emyaka nga bakozesa ekisaawe kino wabula nannyini ttaka lino yatandika okuyiwa ebikozesebwa mu kuzimba kwossa okusima omusingi mu kisaawe ekibalese nga tebamanyi we badda.

Mu ngeri y’emu ettendekero lino liyambye okuzimba ebitono naddala eby’abaana abalenzi n’abawala abatalina mwasirizi abayambiddwa okwegatta ku ttiimu z’amasomero nga Mukono parents’ P/S, Craddle land P/S-Kisoga, Dynaic SSS-Ssonde ne Jjeza Campus n’amatendero ga waggulu.

Agamba nti mu kiseera kino tebamanyi we bagenda kuzza baana baabwe okusobola okusigala nga babayamba kuba bangi ku bano bayimiridde ku bitone byabwe ng’okujibwawo kw’ekisaawe kino kigenda kuziika obulamu bwabwe obw’omumaaso.

 

Beemulugunyizza olwa Hajji Katimbo obutabawa kulabulwa n’obudde okusobola okwetegeka okusobola okufuna we basobola okuzza abaana bano obuzikiriza biseera byabwe eby’omumaaso wabula Haji Katimbo ategeezezza nti bano abadde tabamanyi nga bali ku ttaka lye wabula agamba nti alina antegeka yokubawa ettaka awalala we banaasobola okuzannyira.

Ebisaawe eby’enjawulo bizze bisaanyizibwawo ekissa eby’emizannyo mu matigga kuba bannabyamizannyo babulwa aw’okwetendekera okuzibola okukulaakulanya ebitone byabwe okutuuka ku kmtendera gye bayaayaanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....