TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Coronavirus: Amerika kiri bubi, efiiriddwa abantu 1497 mu ssaawa 24

Coronavirus: Amerika kiri bubi, efiiriddwa abantu 1497 mu ssaawa 24

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2020

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde nti wiiki etandika ye egenda okusinga okubeera embi ng’omuwendo gw’abantu abafa gwakweyongerera ddala.

Shutterstockeditorial10434333bm 703x422

Pulezidenti Trump

Waayogeredde bino ng’olunaku lwa Ssande werwakeeredde, Amerika yabadde efiiriddwa abantu 1,497 mu ssaawa 24 zokka.

Omuwendo gw’abantu abaabadde baakakwatibwa akawuka baabadde 311,632 ate ng’omugatte gw’abakafa okwetooloola Amerika bali 8,500.

Ekisinga okweraliikiriza mu byobulamu n’ebyenfuna, abantu abasinga obungi abaafudde bava mu kibuga New York ekibuga ky’ebyobusuubuzi nga we bwakeeredde eggulo ng’abaakafa bali 2,624.

Gavana wa New York, Andrew Cuomo yennyamidde n’ategeeza nti bimusobedde okubanga obulwadde busaasaana ng’oluyiira ow’ekyanda.

Ekibuga New York bikyabasobedde kubanga amalwaliro mwe bajjanjabira abalwadde tegakyamala batuuse n’okwebakako mu nkuubo.

Ebifaananyi ebitiisa eby’engeri eno byalabiseeko mu ddwaaliro lya Wyckoff Hospital e Brooklyn.

Olw’okutya okusaasaanya ekirwadde, abatwala abantu babawe mu malwaliro e New York nga bali bubi tebafunye mukisa kubakubako liiso vvannyuma nga basiibula ensi.

Obeera olinda okufuna amawulire agafa ku mulwaddewo ne bakakutema nti y’omu ku mirambo egyakatwalibwa ekimotoka mu limbo!

Amawanga amalala nga Yitale webwakeeredde eggulo ng’abaakafa baweze 15,362 abalwadde nga bali 124,632 ate Spain abaakafa baabadde 11,947 n’abalwadde 126,168.

Abazze bafa mu Amerika bw’ogeraageranya n’amawanga agasinze okukosebwa: Amerika April 4, baafa 1,497.

April 3 - baafa 1,084, April 1 - baafa 1,069 ate Yitale nga March 27 – baafa 969 ne Spain – nga April 2 – baafa 950. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono