TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule efulumizza entegeka y’okuggulawo amasomero

Minisitule efulumizza entegeka y’okuggulawo amasomero

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2020

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (coronavirus) tekyongera kusaasaana mu Uganda, amasomero ga nnassale, pulayimale, siniya n’amatendekero g’abasomesa ba pulayimale gagenda kuddamu okuggulawo nga April 27, 2020.

Kuba 703x422

Abayizi b’e Mpigi abaali batereddwa okudda ewaabwe nga bali ku luguudo lw’e Masaka balinda emmotoka.

Wabula yalabudde abakulira amasomero nti kuno kugenda kubeera kusoma kwakumalako lusoma olusooka nga tewali akkirizibwa kusasuza bazadde ssente ndala ezaawukana ku fiizi ze baalina okusasula mu lusoma olusooka.

Abayizi bwe banaabeera bazzeemu okusoma mu kiseera ekiragiddwa baakufundikira olusoma olusooka nga June 12, 2020.

Minisita yagaanyi amasomero okuwa abayizi ebigezo ebimalako olusoma olusooka n’abalagira bakozese obubonero abayizi bwe bazze bafuna mu bisomesebwa mu kibiina buli lunaku bakolemu lipooti y’omuyizi ey’olusoma olusooka.

Olusoma olwokubiri lujja kutandika nga June 22, 2020 lukomekkerezebwe nga September 4, 2020.

Olusoma olwokusatu lujja kutandika nga September 21 okutuuka nga December 19, 2020.

Oluwummula olw’olusoma olusooka n’olwokubiri zigenda kubeera nnyimpi okusobozesa abayizi okumalayo bye bateekeddwa okusoma omwaka guno.

Yunivasite zonna n’amatendekero agaawaggulu ziragiddwa okwetegeka okuddayo okumaliriza olusoma luno okutandika nga May 2, 2020.

Wano minisita weyasinzidde n’alabula yunivasite zonna ezibadde zikaka abayizi n’abazadde okusasula ssente z’ebigezo nti bagenda kubikolera ku mikutu gya yintanenti okukikomya mbagirawo.

Yagambye nti abayizi bangi tebalina ssente wadde ebyuma ebibasobozesa okukolera ebigezo ku yintanenti n’alagira abakulira amatendekero okuggla nga balindako okutuusa ng’eggwanga livudde mu katyabaga k’ekirwadde kya Coronavirus.

Omwezi oguwedde nga March 18, 2020 pulezidenti Museveni ng’ayogera eri eggwanga omulundi ogusooka mu nteekateeka z’okulwanyisa n’okutangira ssennyiga omukambwe okusaasaanira eggwanga, yalagidde amasomero gonna n’amatendekero aga waggulu okuggalawo okumala ennaku 30.

Pulezidenti yategeezezza nti abayizi 15,000,000 abali mu masomero kyali kya bulabe okubalekayo kubanga ekirwadde bwe kikwatako omuyizi omu kisobola okusaasaana ku misinde egya waggulu ne kirumya n’okutta abantu bangi.

Yawa abazadde ennaku bbiri nga bamaze okuggya abaana mu masomero badde eka.

Ekiseera kye yawadde kiggwaako nga April 20, 2020 era wano minisita w’ebyenjigiriza we yasinzidde n’ategeeza eggwanga nti singa byonna bibeera bigenze bulungi amasomero gaakuddamu okuggulawo ku nnaku ze yalambise waggulu.

Minisita w’ebyenjigiriza bwe yabadde ayogera eri eggwanga yategeezezza nti abayizi abasinga obungi bava waka ne bagenda ku ssomero era bingi ku bikozesebwa mu masomero babigabana.

Kuno agattako abayizi abali mu nkambi z’abanoonyi b’obubudamo abakunukkiriza 600,000 be yagambye nti bali mu bulabe kubanga enkambi zino ziriraanye ensalo z’amawanga ag’omuliraano agaamala edda okufuna ekirwadde kya ssennyiga omukambwe nga kyangu okukwata abayizi ne bakisaasaanya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono