TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2020

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Lop2 703x422

OMUSUMBA w’abasodokisi atwala ekitundu ky’e Gulu n’obuvanjuba bwa Uganda, Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okwewaayo mu kiseera kino okubeera abakulembeze era abawereeza eri bannaabwe kubanga kino ky’ekisiimibwa mu maaso ga Katonda.
 
Bino abyogeredde Namungoona  ku makya ga leero mu kusaba okw’ekimpowooze kweyakoze n’agamba nti abakkiriza basanye okuvaayo okubeera abawereeza eri bannabwe mu mbeera ey’okusomoozebwa ensi mweeri oluvanyuma lw’okulumbibwa akawuka ka kkolona nga buli omu abeera omukulembeze mu lutalo luno nga Yesu bweyakola n’abafirira balyoke babeere abalamu.
 
Bp Kisitu era asabye abantu baleme kubuutikirwa kutya mu mbeera eno wabula basanye okuwaayo obulamu bwaabwe eri Katonda waabwe era bekuumire mu ssanyu lya mukama nga ku kumwegayirira mu maka gaabwe,bagateeko n’okumutendereeza.
 
Eno wiiki ya kutaano mu kisiibo era Bp. Kisitu yasinzidde ku nsonga eno n’akubiriza abakkiriza Abasodokisi bonna okweteekateeka mu mitima nga balindirira okwetaba mu kikolwa ekitukuvu eky’okunyeenya amatabi ku lwa ssande April 12,2020 ng’akabonero k’okujjukira okuyingira n’obuwanguzi bwa Kristo bweyayingira ekibuga Yerusalemi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono