TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba abali mu kalantini

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba abali mu kalantini

By Dickson Kulumba

Added 7th April 2020

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi zino zakwasiddwa Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda akulira akakiiko ka gavumenti akagula ebintu ebiweebwa abantu.

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 703x422

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi zino zakwasiddwa Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda akulira akakiiko ka gavumenti akagula ebintu ebiweebwa abantu.

Omulangira David Kintu Wasajja yeyakulembeddemu ekibinja ky’Obwakabaka okutwala ensimbi zino ku ofiisi za Rugunda olunaku lw’eggulo era yategezezza nti Kabaka ali wamu ne Bannayuganda mu mbeera eno ey’okusomoozebwa.

“Nsindikiddwa wano wamu ne Bannange, Ssabasajja Kabaka okutuusa obuyambi buno bukozesebwe mu kaweefube w’okuddukirira abantu baffe abasomoozeddwa embeera ereeteddwa obulwadde bwa ssenyiga omukambwe,”Wasajja bweyategezezza.

Omulangira Wasajja yebazizza gavumenti olw’engeri gyekutemu ensonga z’obulwadde buno era n’akubiriza abantu okutambulira ku biragiro by’abasawo n’okusinga byonna okwekuumira awaka.

Minisita w’ebyobulamu n’embeera z’abantu ba Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu kwogera kwe ku mukolo guno yategezezza ng’Obwakabaka bwebugenderedde okulaba ng’abasawo 150 bafuna ebikozesebwa,ebinaabisibwa mu ngalo 100,okuyamba okuwa emmere eri abo abali mu bwetaavu.

“Tusaba olukiiko lw’eggwanga oluli ku mulimu gw’okukunganya obuyambi buno butukkirize tukolagane nalwo tugabe ebintu bino eri abo abanasalibwawo nga bebasinga okwetaaga obuyambi,” Dr. Nankindu bweyasabye era nga kino kirindiriddwa okuddibwamu kwa gavumenti.

Abalala ababadde ku kibinja ky’Obwakabaka kwabaddeko Omuwabuzi omukulu mu Lubiri Apollo Nelson Makubuya,Minisita w’amawulire Noah Kiyimba,Omukungu avunanyizibwa ku bagenyi David Ntege, Sam Dick Kasolo, Joseph Mugagga omubalirizi w’ebitabo mu ggwanika okutuusa obubaka b’Obwakabaka buno.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono