TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye yafudde ssukaali

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye yafudde ssukaali

By Dickson Kulumba

Added 7th April 2020

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye mu bulamu bwensi nga wakuziikibwa olunaku lwa leero.

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 703x422

Katikkiro w’ekika kino Katuluba Ssebunya yategezezza Bukedde nti Hajj Kibirige yagonda mu kkiro ekyakeesa olwa Mmande ku ssaawa munana bwatyo natwalibwa mu ddwaliro eriyitibwa Victoria Hospital mu Kampala era n’afa ku ssaawa ssatu ez’ekkiro ekya Mmande April 6,2020.

“Okuva lweyatuusiddwa mu ddwaliro,yatereddwa mu byuma era teyavuddeko okutuusa lwe twategezeddwa nti Jjajja atufuddeko. Kitalo nnyo ddala era nsaba abazzukkulu ffena tusigale nga tuli bumu,” Katikkiro Ssebunya bweyategezezza.

Kibirige nga ye mukulu w’ekika kino ow’ennono ow’omusanvu anajjukirwa olw’okununula ekika kye okuva ku nsowole ezaali zikitambuza okumala emyaka 89 era agenze okuva mu bulamu bwensi ng’alindirira okukola emikolo egikakasa Kiweewa wa Buganda (omwana omukulu owa Kabaka) nga ye Chrispin Jjunju.

EBIMUKWATAKO:

Hajj Mohamood Minge Kibirige yazaalibwa nga 1943 ku kyalo Buwaate mu Ssabaddu Kira mu ssaza ly’e Kyadondo. Baaakadde Bumaali Kibirige ne Mayimuna Nabakooza ng’ono yali azaalibwa Yusuf Kakooza ab’e Najjera Kyadondo.

 mutaka asujja Omutaka Kasujja

 

Okusoma kwe Pulayimale yagitandikira ku ate siniya Old Kampala SS gyeyakolera Cambridge school certificate oluvanyuma mu East African Posts and Telecommunications corporation ng’eno yayita mu mitendera egiwera okutuusa lweyafuuka Post Master’.

Bweyawummula natandika okusuubula e Dubai ne London ate oluvanyuma nayingira mu kuwoza emisango gw’ekika kye Ngeye mu 2005 ng’oludda lwe lwaali luwoza n’olwa Joseph Mulekwa Kabaalu ne Yakobo Ntaate Mayanja

OKULAFUBANA KWE OKUWOZA OBUKULU BW’EKIKA:

Omusango gw’obukulu bw’ekika ky’engeye gwasalwa 2005 newabawo okujjulira,negusalibwa 2012 mu kkooti ya Kisekwa ate olwo Kabaka nalyoka agusala mu January 2016 ng’obomutuba gwa Kalute omuva Omutaka Kasujja basinze.

 

Kalute Samwiri Ssebunya yalonda Hajj Minge Kibirige nga Kasujja (omukulu w’ekika ky’engeye). Nga March 11,2016  kwe kwaali okwabizibwa kw’olumbe lwa Omutaka Alikaadi Zibukuyimbwa Kasujja VI ate enkeera Hajj Kibirige natuuzibwa ku bwa Kasujja nga March 12,2016.

Hajj Kibirige Kasujja oluvanyuma lw’emikolo gy’okumutuuza,yayanjulibwa mu ofiisi ya Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga April 8,2016

Nga June 28,2016 Hajj Kibirige Kasujja VII yayanjulwa mu maaso ga Kabaka Mutebi II mu Lubiri e Mmengo ku mukolo kweyakunganyiza bazzukkulu bangi ddala ekintu ekyasanyuka Omutanda.

Hajj Kibirige yeyama mu maaso ga Kabaka kwoolwo nga bwagenda okulaba ng’agatta ekika kino n’okuzzaawo emirimu gyaakyo mu Bwakabaka wakati mu kukuuma ennono.

 

“Ssabasajja Kabaka neyaama wano mu maaso go newankubadde ng’ekiseera kyenfuniddeko Obwakasujja nsanze ng’ekika kyaffe kiyuziddwayuziddwa abakuumi ababadde bakikulembera okumala ebbanga ery’emyaka 89, Ssabasajja nkukakasa nti ndi mumalirivu okuzaawo ettuttumu n’ekitiibwa ky’ekika ky’engeye nga bwekyabeeranga edda nsobole okuyamba Katikkiro waffe omulungi mu kuzza Buganda ku ntikko,” bwatyo Hajj Kibirige Kasujja bweyayogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono