TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababadde batwala omulambo batuuyanye okufuna ebipapulaa eby’okutambula.

Ababadde batwala omulambo batuuyanye okufuna ebipapulaa eby’okutambula.

By Henry Nsubuga

Added 7th April 2020

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe eyafudde okusobola okugutwala gye yabadde alina okuziikibwa.

Mknmu21 703x422

Najjingo ne banne nga bali ku mmotoka ey'omulambo nga balinda ekipapula bagende e Mitalamaria okuziika. Wano nga bali ku woofiisi ya RDC e Mukono.

Julius Kisuule ow’oluganda yagambye nti William Nsereko (32) ye yafudde kyokka ng’okutambuza omulambo okugutwala e Mitalamaria mu disitulikiti y’e Mpigi tekyababeeredde kyangu.

Kisuule yagambye nti okusobola okufiibwako, baabadde balina okwetikka ssentebe waabwe ow’ekyalo ne bamuteeka ku kabangali okuli omulambo ne bagenda ku woofiisi ya RDC w’e Mukono Fred Bamwine okulaba nga bakolebwako mu bwangu.

Mwannyina Josephine Najjingo yagambye nti kikyamu okuba ng’oli afiiriddwa omuntu we ate n’abonaabona okufuna obusobozi okutwala omulambo okuguziika.

Ye ssentebe w’ekyalo Nassuuti Edmond Kiberu yagambye nti kyetaaagisa gavumenti ebeeko ky’ekolawo kuba RDC mu kiseera kino emirimu mingi gy’atasobola kutuukiriza ng’abantu abansinga bakaluubiriziddwa.

  bamu ku batuuze nga bali ku woofiisi ya c amwine e ukono okufuna ebiwandiiko ebibatambuza okugenda mu bifo ebyenjawulo Abamu ku batuuze nga bali ku woofiisi ya RDc Bamwine e Mukono okufuna ebiwandiiko ebibatambuza okugenda mu bifo eby'enjawulo.

 

Kiberu yagambye nti abamu ku baakaaluubiriziddwa mu mbeera eno mwe muli n’abakyala b’embuto nga bamala ebiseera bingi ku woofiisi ya RDc nga tebayambiddwa ne balyoka babeer awo nga beenyoola ebisa bwe bibasimba.

Ne Winnie Nakitende omutuuze w’e Katosi naye yannyonnyodde obulumi bwe baayiseemu okulaba nga bafuna olukusa okunona omulambo gw’omwana mu ggwanika e Mulago gye yafiiridde.

Nakitedde yagambye nti olugendo luno baaalutandiseeko ssaawa 12:00 ku makya kyokka nga ne we zaaweredde ssaawa 7:30 mu ttuntu nga bakyali ku woofiisi ya RDC balinda.

Ye RDC Bamwine teyafunyise kubaako ky’ayogera oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’ali mu lukiiko n’abakulembeze abalala.

eby'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono