TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2020

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 703x422

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja awadde amagezi Bannayuganda naddala abayingidde ebyalo eby'enjawulo olw'ekirwadde kya Covid-19 nti  beeyambise akaseera kano balime emmere mu bungi nti kubanga amawanga ag'enjawulo gagenda kugyettanira nnyo olw'embeera eno abamu etabakkiriza kufuluma mu mayumba gaabwe. 

Minisita Ssempijja asinzidde Lukaya ng'alambula ezimu ku pulojekiti ze ez'obulimi n'agamba nti Bannayuganda abasinga balina omukisa nti bbo obulwadde buno basobola okubwekweka mu nnimiro zaabwe nga bwe balima ebirime eby'enjawulo n'agamba nti era omukisa we guli Gavumenti okubakwatizaako ng'ebagabira ebigimusa n'eddagala erifuuyira ebiwuka kyokka  ne yennyamira ku bamu ku bavubuka abaavudde mu bibuga nga kati mu kifo ky'okukola ate beenyigidde mu kukola ffujjo ku byalo ky'agambye nti kikyamu bakikomye bunnambiro.

Bya John Bosco Sseruwu-Kalungu

BukeddeSsonsomola

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono