TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno omusika w'ekika ky’engeye omuggya Sheba Kakande Kibirige

Wuuno omusika w'ekika ky’engeye omuggya Sheba Kakande Kibirige

By Dickson Kulumba

Added 10th April 2020

Wuuno omusika w'ekika ky’engeye omuggya Sheba Kakande Kibirige

Dik1 703x422

omukulu w’ekika ky’engeye omuggya Sheba Kakande Kibirige

WUUNO omukulu w’ekika ky’engeye omuggya Sheba Kakande Kibirige 32 eyalondeddwa okudda mu bigere bya Hajj Minge Kibirige ng’omukulu w’ekika ky’engeye ow’ennono ow’omunana ng’obuvunanyizibwa aweze okubukwasa emikono ebbiri.
 
Ono mutabani wa Rashid Kakande Kibirige ng’ono mutabani w’Omugenzi Hajj Minge Kibirige Kasujja eyaziikiddwa ku Lwokusatu April 8, 2020 ne Rehema Nantale muwala w’eyali omubaka wa gavumenti e Mpigi,Hajj Swaibu Lubega Wagwa.
 
Rashid Kakande akola mu byansimbi (accounting officer) eyo mu Amerika ate nnyina Nantale naye musawo mu Amerika eyo nga bano bamuzaalira Makerere.
 
Okusoma kwe yakutandikira Najjeera Progressive okuva P1-P7, Kinaawa High School Mugongo S1-S4 oluvanyuma neyegatta ku Gombe SS gyeyamalira Haaya. Yegatta ku Makerere University Business School (MUBS) gyeyafuna diguli mu by’ensimbi (BBA-Finance).

Sheba Kakande kati Kasujja(omukulu w’ekika ky’engeye) omuggya,yatandikawo kkampuni eyitibwa Macail Holdings Ltd esangibwa e Mengo ng’eno ekola mu by’ettaka n’okukulakulanya ebitundu.

 
Sheba Kakande Kibirige abadde avunanyizibwa ku by’amawulire mu kika ky’engeye mu bukulembeze bwa jjajjawe omugenzi Hajj Minge.
 
“Obukulembeze bwa Jjajja nga bwetegereza bulungi naddala gyekiri nti nze mbadde ow’amawulire mu kika era bangi ku bazzukkulu mu kika nkolaganye nabwo n’olwekyo ndi mwetegefu okutambuza obuvunanyizibwa buno obuggya obwampereddwa,” Kakande Kasujja bwanyumya.
 
Agamba nti jjajja we (Kasujja ow’omusanvu) amuyigiddeko ebintu nkumu okuli obukakkamu,okugatta abantu abantu,okubeera omugumikkiriza n’okukwata empola buli nsonga byeyayogeddeko nti bikulu mu bukulembeze.
 
Mu nnono ya Buganda,omukulu w’ekika bwasereera,abakulu abasigaddewo balangirirawo amuddira mu bigere kubanga obukulu bw’ekika tebusulira awo. Ne ku mulundi guno bwekyabadde- Hajj Minge Kibirige eyafa ekkiro kya Mmande, ku lwokubiri ekiraamo kye kyasomebwa nga yalaamira Sheba Kakande Kibirige amuddire mu bigere era mu budde obwo abaeera afuuse omukulu w’ekika alinze okukolebwako emikolo.

Mu kwogerako ne Bukedde oluvanyuma lw’okusalawo kwa Jjaajawe okuteekebwa mu lwattu, yatubulidde byayagala bazzukkulu kati, benyigiremu.

“Essira ngenda kusooka kulisa ku kwegatta kwaffe nga ab’engeye.
 
Kino tuli bakukikola ku lw’ennono zaffe ng’abawamu ate mu kutumbula ebyenfuna kuba tulina ekibiina ky’obwegassi ekiyitibwa Ngeye Kwagala Association okutumbula enyingiza mu kika kyaffe,”Kakande Kasujja bweyategezezza.
 
Yayongeddeko n’ajjukiza abazzukkulu nti okukwatira awamu okuyitimusa ekika kino,buvunanyizibwa bwa buli omu era tebasanye kulekera mirimu bantu balubatu.
“Obukulembeze bw’ebika si sitaani era tebuliiko myaka era ng’ekikulu kyendaba mu kino kwe kuteekateeka omwana oba omuntu okubeera kyoyagala abeere.
 
Eno y’empagi kwendaba nga kwetulina okutambulira singa tunakulakulanya ebika byaffe mu Buganda,” Kasujja bwateesa.
 
Kakande Kasujja nga mwogezi ow’empolampola yamaliriza ng’akunga abavubuka mu kika kye okwongera okwetanira emirimu gyaakyo ate abo ababadde bakyali abanyivu okuviira ddala mu misango gy’obukulembeze bw’ekika kino,okunyigulukuka kubanga Kabaka talabwa mu kamwa,ensonga y’obukulembeze bw’ekika ky’engeye yagisalawo dda nga basanye okwegattira awamu okutwala ekika kino ku ntikko gyayagala kibeere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono