TOP

Eyatoloka mu kalantiini adduse ku poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2020

Eyatoloka mu kalantiini adduse ku poliisi

Wip1 703x422

Tumusiime nga yeekwese abaserikale ba poliisi.

Poliisi yasoose kulowooza nti Ambrose Tumusiime okweyita omulwadde wa ssennyiga wa coronavirus yabadde alimba ng’ayagala kwetaasa. Kyokka bwe baamulinnyisizza kabangali n’atwalibwa ku CPS yagenze akolola nnyo. Yalemeddeko: munjawule nze nnina corona.

Yalabye bamuyingiza akaduukulu kwe kuggyayo ebbaluwa eziraga nga yakeberebwa ng’alina obubonero bwa corona n’atwalibwa e Mulago gy’abadde akuumirwa. Kigambibwa nti yatolose e Mulago ku Lwokusatu emisana.

Yategeezezza Bukedde nti bwe yatuuse mu Kampala nga talaba ngeri gy’atuukamu waabwe. Obudde bwe bwawungedde n’asalawo addeyo e Mulago era poliisi kwe kumukwata ng’ali okumpi ne Sure House ku Kampala Road ng’amenye kafiyu. Kyokka Bukedde teyasomye ku biwandiiko bya musajja ono.

Abaserikale bwe baasomye ebiwandiiko baatidde nnyo ne bamutuuza mu luggya awasimba emmotoka za poliisi. Abaserikale baalabise nga bamutidde okutuusa lwe baamulagidde atambule agende e Mulago.

Yafubutuse n’adduka. Olwo essaawa zaabadde mu 3:00 ez’ekiro. Kyokka oluvannyuma abaserikale baafunye ekirowoozo ekimulondoola bamukomyewo bayite ambyulensi emutwale. Kigambibwa nti baamubuliddwa.

Wabula we yabulidde yabadde amaze okwetaba n’abantu abalala be yabadde nabo ku kabangali ya poliisi. Abaserikale baaleese eddagala ne bafuuyira omusajja we yabadde atudde. Baafuuyidde n’abantu be yabadde nabo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza Bukedde nti waabaddewo ekikwekweto ku Lwokusatu ekiro mwe baayooledde abantu 40. Babasunsulamu bavunaanibwe. Kyokka yagambye nti eby’omusajja agambibwa okuba ne corona Bukedde erina kubuuza minisitule y’Ebyobulamu.

Ekikwekweto kyakuliddwa ASP Ivan Nduhura avunaanyizibwa ku bikwekweto ku CPS. Abaakwatiddwa kuliko; Sunday Mangeni, John Karuganda, Eriabu Beyongera, Ibrahim Kavuma, Frank Kalungi, Muhammad Ssennyange, Geofrey Kamakara, Lino Ochen,Prosperi Tumwebaze, Sunday Yoweri, Fatuma Nabbanja, Sadat Kabakubya, Florence Nakazibwe, Baptisita Omirambe,Amon Nansibye, Ronald Makosi, Osman Sserwadda, Fred Pariyo, Joseph Katondakyakuwa, ne Daglous Ssebbanga. Bukedde teyasobodde kufuna kunnyonnyola kutongole ku nsonga z’omusajja ono. Twabadde tetunnakakasa oba kituufu yatolose Mulago era oba yazzeeyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono