TOP

Bannayuganda 400 abali e Dubai baagala kudda

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2020

Bannayuganda 400 abali e Dubai baagala kudda

BANNAYUGANDA 400, batubidde mu bibuga okuli Dubai ne Abu Dhabi, baagala kudda mu ggwanga olwa ssennyiga omukambwe atta enkumi n’enkumi z’abantu mu nsi yonna buli lunaku.

Bano, gavumenti ebakoledde enteekateeka okubazza mu Uganda kyokka omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’abakozi n’ekikula ky’abantu, James Ebintu yagambye nti, balina okugoberera ebiragiro bya Pulezidenti. Yagambye nti, baawandiikidde ebitebe bya Uganda byonna mu Buwalabu ne kkampuni ezitwala abantu ku kyeyo okukola olukalala lwa bannayuganda bonna abatubidde nga bandiyagadde okudda ku butaka.

Yagambye nti, yasabye bamuwe ebikwata ku Bannayuganda bonna mu Buwalabu n’engeri gye bakoseddwamu embeera ya Coronavirus n’agamba nti, ku bye yaakafuna, Bannayuganda 400 mu ggwanga lya United Arab Emirates (UAE) mwokka baamaze dda okwewandiisa okudda ku butaka.

“Naye, olw’obulungi bw’abantu baffe n’obulamu bwabwe, twasazeewo okugoberera ebiragiro bya pulezidenti, sigala w’oli okutuusa nga Gavumenti evuddeyo n’ebiragiro ebiralala,” Ebintu bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, mu kaweefube gwe baliko ow’okuwandiika Bannayuganda abali ku kyeyo, basanze obuzibu bw’abantu abaagenda ku kyeyo nga tebayise mu makubo matuufu.

“Bwe tunaamala okubawandiika bonna, Gavumenti ejja kulaba engeri gy’etuuka ku bantu bano nga bwe yakola ku bayizi Bannayuganda abaali basiraanidde mu kibuga Wuhan e China,” Ebintu bwe yategeezezza. Bannayuganda abali mu Buwalabu si beebokka abaagala okudda ku butaka, abalala bangi abali mu mawanga okuli China, Italy, Spain, Bungereza, Amerika n’amwanga amalala amaloboozi gaabwe gazze gawulirwa nga balajana olw’embeera ya kalantiini gye balimu.

Wano mu Uganda, abagwira bangi amawanga gaabwe be gakoledde enteekateeka ne babazza ewabwe ekisinze okutabula Bannayuganda abali ku kyeyo nga beebuuza lwaki Gavumenti bbo tebafuddeeko.

Ismael Ssebuggwawo ssentebe w’ekibiina ekigatta Bannayuganda abakolera mu Abu Dhabi yawandiise ng’ategeeza Bannayuganda b’akulembera nti, ku nteekateeka z’ekitebe kya Uganda mu UAE okuwandiika Bannayuganda bonna abaagala okudda ku butaka. “Ambasada agamba buli ayagala okudda eka, yeewandiise ku kitebe kya Uganda oba eri abakulembeze baabwe.”

Ssebuggwawo bwe yategeezezza. Waliwo ne Munnayuganda eyagenda okukola obwa makanika eyalajanye nti, ssennyiga yeyongera okusaasaana, Bannayuganda bangi emirimu gyaggwawo dda era tebamanyi kiddako.

ABALWADDE BEEYONGEDDE Ku Lwokusatu, minisitule y’ebyobulamu yategeezezza nti, abalwadde baabadde baweze 53 oluvannyuma lw’okuzuula omukazi omulala n’akawuka ka Coronavirus ku bantu 214 be baakebedde.

Omulwadde owa 53 okusinziira ku dayirekita w’ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu, Henry Mwebesa, mukazi wa myaka 36, mutuuze w’e Wakiso yava China nga March 21. N’agamba nti, baakakebera abantu 3,534.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono