TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etandise ebikwekweto ku bboodabooda ne kabangali

Poliisi etandise ebikwekweto ku bboodabooda ne kabangali

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2020

Poliisi etandise ebikwekweto ku bboodabooda ne kabangali

Top1 703x422

Joseph Katondakyakuwa gwe baakwatidde ku Queensway ng’atunda ebikajjo mu kigaali.

ABEEBYOKWERINDA ku makubo batandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky’okukwata mmotoka za kabangali ezisangibwa nga tezitambuza byamaguzi.

Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga ku Lwokusatu ekiro, yayongedde okuwa ebiragiro ebikkakkali mu kaweefube w’okulwanyisa ssennyiga omukambwe n’alagira abaserikale okukwata kabangali ezisangibwa nga tezitisse byamaguzi.

Yagambye nti, kabangali ezirina okubeera ku kkubo ze zokka ezitisse ebyamaguzi, ezitalina bya maguzi bye zitwala, yalagidde zikwatibwe. Waliwo abantu ababadde beeyambisa omukisa ogwalekebwawo ku mmotoka ezitambuza ebyamaguzi ne batambuliramu okutuuka mu bifo bye baba baagadde okutuukamu.

Museveni yawadde n’ekiragiro ekirala ku bboodabooda n’agamba nti, zirina kukoma ssaawa munaana ez’emisana bwe zisukka obudde obwo, yawadde abeebyokwerinda olukusa ne bw’eba etisse ebyamaguzi bagikwate.

Yalagidde zino zitandike okukola ssaawa 1:00 ey’oku makya zikome ku ssaawa 8:00 n’agamba nti, waliwo abantu ababadde bakyebbirira ne batikka abasaabaze ku bboodabooda n’agamba nti, tewali muntu yenna ateekeddwa kutambulirako. Yalabudde n’aba loole ezakkirizibwa okutambuza ebyamaguzi abamenya amateeka ne bateekamu abasaabaze n’agamba nti, baakukwatibwa.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, baatandikiddewo ebikwekweto nga Museveni yaakamala okuwa ekiragiro n’agamba nti, abantu bandibadde tebalinda poliisi kubakwata nga bakimanyi nti kye bakola kimenya mateeka.

Yagaseeko nti, abanaakwatibwa baakuggulwako omusango gw’okugyeemera ekiragiro kya pulezidenti n’agamba nti, waliwo engeri ssatu eziyinza okubeerawo omuli okubatwalirawo mu kkooti singa kkooti ziba zitudde, okukuuma mmotoka oba ppikippiki ku poliisi okumala ekiseera oba okubatwala mu kkooti oluvannyuma singa kkooti ziba zitudde.

Enanga yagambye nti, ekiseera kino abantu bandibadde beegendereza nnyo wadde baagala okutambula, tebamanyi gye bagenda kiki kiriyo, baagala okukyalira abantu baabwe mu byalo naye mu kino, basobola okusaasaanya obulwadde bwe baba babulina ne babusiiga be basanze mu byalo oba okubuggya mu byalo ne babuleeta mu kibuga. Ebikwekweto ebirala ebyamaanyi byabadde ku luguudo lw’e Masaka, amagye okwabadde ne militale obweda bayimiriza emmotoka ezaabadde ne sitiika ezibuusibwabuusibwa era emmotoka ezimu ne zikwatibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka