TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Nnamukadde w'emyaka 107 awonye ekirwade kya Corona

Nnamukadde w'emyaka 107 awonye ekirwade kya Corona

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2020

Abantu okwetooloola ensi nga bakyewanise emitima olw’ekirwadde, amawulire ag’essanyu gaavudde e Butuluuki nga nnamukadde ow’emyaka 107 assuuse ekirwadde kya Corona.

Havahankaradeniz67 703x422

Namukadde Havahan eyawonye Corona

Havahan Karadeniz baamututte mu ddwaaliro wiiki ewedde nga biwalattaka ng’afunye obubonero bwa corona bwonna okuli omusujja n’okukolola okw’amaanyi olwamukebedde ne bazuula nti yabadde alina corona.

Olwamuwadde obujjanjabi okumala ennaku n’awona era ku Lwokubiri baamusiibudde ne bamuzzaayo ewuwe kyokka abasawo ne bamulagira okweyawula ku bantu abalala nga bwe balondoola enkyukakyuka mu bulamu bwe.

Dr. Ozgur Yigit okuva mu Istanbul Education Research Hospital yategeezezza nti eddagala erisinga okuwonya n’okutangira ekirwadde okusasaana kwe kwawula omulwadde n’abeera nga tatuukirirwa bantu balala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono