TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibiina ky'okubaka kiwanise ku by'okukyaza U-21 Netball World cup qualifiers

Ekibiina ky'okubaka kiwanise ku by'okukyaza U-21 Netball World cup qualifiers

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2020

Ekibiina ky'okubaka kiwanise ku by'okukyaza U-21 Netball World cup qualifiers

Jit1 703x422

EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation (UNF),kirangiridde nga bwe kisazizzaamu empaka z’African U-21 netball world cup qualifiers.

Kino kiddiridde Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wiiki ewedde okwongezaayo ennaku z’abantu okusigala nga beekuumira awaka, awatali kukung’aana okutuusa nga May 5 ate nga n’ensi 13 zonna ezibadde zigenda okwetaba mu mpaka zino,ekirwadde kya ssennyiga omukambwe kikyazigoya ekitadde ensi yonna ku bunkenke.

Empaka zino zibadde zaakuzannyirwa wano mu MTN Arena e Lugogo wakati wa May 4-12 n’ekigendererwa ky’okusunsulamu ttiimu z’Africa nnya okugenda mu World Cup w’abatasussa myaka 21 (U-21 Netball World Cup) e Fiji mu July w’omwaka ogujja.

Joselyn Uchanda Maneja wa UNF agamba nti embeera y’ebyemizannyo kati yataataganyizibwa mu nsi yonna era tebakyasobola kukyaza mpaka zino okutuusa ng’omuntu afunye w’assiza ku mukka kuba obulamu bwe bugagga.

“Twali tusuubira ensi z’Africa 13 era nga tumanyi nti May w’anaatuukira ng’embeera eteredde naye kati empaka tuzisazizzaamu okutuuka gye bujja nga tukoze enteekateeka yaazo empya ssinga ssennyiga omukambwe aggwaawo,” Uchanda bwe yakakasizza.

Uganda ebadde enoonya kwetaba mu U-21 World Cup omulundi ogwokusatu, ogwasembayo mu 2015 e Botswana baamalira mu kyamunaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...