TOP

Buddu eggumidde n'akakiiko k'abantu 18

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2020

Buddu eggumidde n'akakiiko k'abantu 18

Tip1 703x422

Bya Gerald Kikulwe

OLUVANNYUMA lw’essaza lya Buddu okukomyawo omutendesi Steven Bogere omwezi oguwedde, lisunsudde olukiiko lw’abantu 18 abagenda okutambulirako ensonga okulaba nga baddamu okutwala ekikopo kya Airtel Masaza Cup omulundi ogwokubiri.

Joseph Lutaaya ye ssentebe,amyukibwa George Kwagalana Walakira ne Medie Sserwadda, Steven Zziwa(Muwandiisi),Quraish Kayiza(Maneja), Ali Matovu(Muwanika), Muhammad Musa Kigongo ne Chris Kasagga(b’amawulire), Rose Muwonge ne Bulu Jjumba(Basawo), Yahaya Lyagoba(mukubiriza), Berna Nakasule ne Musa Bwanika(ba byakulya), Joseph Ssemaganda(bya ntambula)

Abalala kuliko; Nakibinge Kaggwa, Sortius Ssegawa, Ronald Bbaale Mugerwa ne  David Byarugaba.

Pokino w’essaza Jude Muleke agamba nti kati essaza liggumidde era nga buli nsonga yaakutambula bulungi ssinga ekirwadde kya ssennyiga omukambwe kinaggwa mu ggwanga emizannyo najo negiddamu okuzannyibwa.

“Bonna abalondeddwa ku lukiiko lw’essaza bakakasiddwa nga basobola,tusaba Katonda asaasire ensi, akawuka ka Corona Virus akaleeta ekirwadde kya COVID 19 kaamuke obulamu bw’abantu,” Muleke bwe yategeezezza.

Buddu yakoma okuwangula ekikopo ky’amasaza mu 2016, omwaka oguwedde yamalira mu kyakuna bwe yakubwa Kyadondo(2-1) e Namboole.

Sizoni y’omwaka guno esuubirwa okutandika ku ntandikwa y’omwezi gwa June ssinga embeera ya ssennyiga omukambwe eggwa mu ggwanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...