TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amazzi gagobye abatuuze b'e Bbaale - Masaka mu maka gaabwe

Amazzi gagobye abatuuze b'e Bbaale - Masaka mu maka gaabwe

By Ssennabulya Baagalayina

Added 12th May 2020

ABATUUZE b'e Bbaale e Nabugabo mu Masaka basattira olw'amazzi okubasalako n'abamu ne gabagoba mu mayumba nga tebakyalina we beegeka luba.

Bbaalenabugabo39 703x422

 
Omujjuzo guno baguyise gwa byewuunyo nti guvudde ku nnamutikwa w'enkuba afuddemba mu disitulikiti so ng'ekyalo kyabwe kitudde ku lusozi awatalina kakwate n'ennyanja ye Nabugabo.
 
Mu kiseera kino amazzi gajjudde mu nnimiro, amakubo ne mu mpya nga n'abalina amayumba ag'ebbeeyi gazibalesezaawo ne babundabunda.
 
Ssentebe wa LCI Teopista Nakanwagi Kasozi ategeezezza nti ekyalo kino akimazeeko emyaka 40 naye talabangako nkuba etonnya bw'enkanidde awo n'efuula ekyalo emigga.
 
Muky. Kasule agambye nti basobeddwa naddala mu kiseera kino ekya Coronavirus awatakyali muntu gy'abuddamira mu b'enganda ze.
 
Awagiddwa abatuuze be abalaze okutya olw'enjala eboolekedde kubanga n'ebirime byonna bye baasimba byabulidde mu mazzi gattako okusuula amayumba gaabwe.
 
Balaajanidde minisitule y'ebigwa tebiraze okubadduukirira n'emmere n'obuyambi obulala nga bw'ekola ku bayagga olw'ekirwadde kya COVID 19.
 

 

 

 

alt=''

 

alt=''

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...