TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi e Mpigi ekoze ekikwekweto mw'ekwatidde pikipiki enzibe 6 ne takisi ebadde etisse abasaabaze

Poliisi e Mpigi ekoze ekikwekweto mw'ekwatidde pikipiki enzibe 6 ne takisi ebadde etisse abasaabaze

By Paddy Bukenya

Added 20th May 2020

POLIISI y'e Gomba ekoze ekikwekweto ku pikipiki ezitikka abasaabaze n'ezitambula mu budde bw'ekiro n'ekwatiramu pikipiki enzibe 5 ne takisi ettise abasaabaze.

Poliisiyegombangeragapikipikienzibeeziyoleddwamukikwekweto 703x422

Ekikwekweto kino kikulembeddwamu DPC wa Gomba Alphonse Musoni n'akulira poliisi y'e bidduka mu Gomba Fidel Bigirimana nga biyindidde mu bubuga okuli; Kanoni, Kabulasoke, Bukandula n'obulala era okukkakkana nga piikipiki ezisoba mu 40 ziyooleddwa lwa kutikka basaabaze n'okumenya amateeka ga Pulezidenti amalala aga kafiyu. 

Mu kikwekweto kino bakwatiddemu pikpiki enzibe mukaaga gattako motoka ya takisi ebadde ettise abasaabaze n'emmotoka za buyonjo bbiri ezibadde ziva e Kampala okwolekera e Gomba gattako obugaali bu maanyigakifuba bwe basanze nga bannannyini bwo bali mu bbaala nga banywa mwenge kyokka bwe balabye poliisi ne badduka era nga byonna bikuumirwa ku poliisi y'e Kanoni. 

Musoni ategeezezza nti ebikwekweto bya bboodabooda ezitikka abasaabaze byakugenda mu maaso nga bataayiza amakubo amatono aba bboodabooda gye babadde bayita okukuba poliisi ekimmooni.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...