TOP

Machar wa South Sudan akwatiddwa Coronavirus

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2020

Machar wa South Sudan akwatiddwa Coronavirus

Mac1 703x422

Machar (ku kkono) ng’abuuza mu ngeri y’okwetangira obulwadde bwa Corona.

GAVUMENTI ya South Sudan eguddemu akasattiro, Omumyuka wa Pulezidenti ne Minisita w’Ebyokwerinda n’abakungu abalala bwe bakwatiddwa obulwadde bwa Corona obwakatta abantu 7 mu ggwanga eryo.

Abakwatiddwa ye; Omumyuka asooka, Dr. Riek Machar, Minisita w’ebyokwerinda Angelina Teny ng’ono mukyala wa Machar wamu n’abakuumi baabwe n’abakozi ab’omu ofiisi zaabwe. Dr. Machar yalabiseeko ku ttivvi y’eggwanga n’akakasa bannansi ba South Sudan nti baamukebede ng’alina obulwadde era agenda kuggalira awamu wiiki bbiri ng’abasawo bwe bamwekenneenya kubanga tali mu mbeera emwetaagisa okugenda mu ddwaaliro.

South Sudan we bwatuukidde eggulo nga yaakafuna abantu abakwatiddwa obulwadde buno 347 nga yaakafiirwa abantu 6 ate abantu bana bokka be baakawona obulwadde. Dr. Machar abadde mmemba ku kakiiko akalwanyisa Coronavirus okutuusa wiiki ewedde Pulezidenti Salvar Kiir lwe yakyusizza abakabaddeko era ku be yaggyEeko ne Machar mwe yagendedde.

TRUMP ALI KU DDAGALA Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump awuniiriza ensi bw’ategeezezza nti amaze ebbanga ng’amira eddagala erya ‘Hydroxychloroquine’, ly’alumiriza nti liwonya Coronavirus, kyokka ng’abasawo baliwa balwadde ba musujja gw’ensi.

Trump yagambye nti talaba nga ddagala ddungi nga Hydroxychloroquine era ajja kusigala ng’alimira kubanga limukoledde eby’amagero kyokka yalumbiddwa bannabyabufuzi nti asusse okubalaatira ku nsonga z’obulwadde n’atuuka n’okumira eddagala nga tewali bukakafu bwonna nti mulwadde.

Sipiika wa Palamenti ento, Nancy Pelosi yagugumbudde Trump nti alabika aliko n’ekikyamu ku mutwe okuddira eddagala ly’omusujja n’alimira ng’ebitongole ebyobulamu byonna mu Amerika lyalabula dda abantu ku ddagala eryo okulimira.

Gye buvuddeko, Trump yalangirira nti abawabuzi be mu by’obulamu baamukakasizza nti ‘Hydroxychloroquine’, akola bulungi mu kulwanyisa akawuka aka Coronavirus era abantu basaanye okumweyunira. Kyokka ebitongole by’obulamu n’ebibiina by’abasawo baamugugumbula nti alelembuka bulelembusi na bigambo by’atalinaako bukakafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...