TOP

Beeraliikiridde ku kya Gavt. okubunyisa masiki

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2020

Beeraliikiridde ku kya Gavt. okubunyisa masiki

Teg1 703x422

Abapoliisi nga bagezaako okutangira owabooda aweese omukazi woolubuto n’emigugu.

Emmotoka z’obwannannyini zigenda kukkirizibwa okukola naye nga zitambuza abantu basatu bokka nga ne ddereeva omutwaliddemu, kyokka nga balina okubeera ne masiki entuufu, gavumenti z’egenda okugaba mu wiiki bbiri

Kafeero Ssekitoleko (Nakifuma) era ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’enguudo yagambye nti ekituufu kisobola okukaluubirira Gavumenti okugabira abantu obukadde 30 masiki mu bbanga lya wiiki bbiri era alabawo okutya nga wiiki bbiri ziweddeko ng’abantu tebannaweebwa masiki.

Abantu abavuga emmotoka z’obwannanyini alaba nga balina obusobozi okwegulira masiki ezituukana n’omutindo, n’agamba nti gavumenti ky’erina okukola kwe kulagirira abantu masiki entongole ebabuulire ne we balina okugigula batandike okukozesa emmotoka zaabwe n’okudda ku mirimu.

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago yagambye nti Pulezidenti bw’aba asumulula abantu okukola ayanguyeeko kuba embeera abantu mwe bali mbi nnyo.

Ebyokussa “lane” za bodaboda ku nguudo mu kiseera kino yagambye nti tebisoboka kukolebwako okugyako ng’aba bodaboda Pulezidenti tayagala baddemu kukola kubanga bye yayogedde tebisobola tebikolebwa mu lunaku lumu.

Yagambye nti bagenda kutuuza olukiiko baddemu batunuulire embeera eriwo mu Kampala ku bintu Pulezidenti by’ayagala naye ekya “lane” kye basing okulabamu obuzibu kubanga enguudo z’omu Kampala ezimu za ttaka nga tolina bw’oteekako “lane” ya bodaboda.

Kansala Daudi Lwanga owa NRM yagambye nti ebintu bya bodaboda bikyali bizibu era Pulezidenti abayambe azikkirize zitandike okukola naye ebisaanyizo Pulezidenti by’ayagala biri wala n’obusobozi bw’ekibuga nti era n’embeera y’enguudo eriwo ekalubya embeera.

Kauju yategeezezza nti enteekateeka ku takisi ne bodaboda mu kibuga bo baagikola dda ne bagyanjula mu Gavumenti erindiriddwa kuyisibwa lukiiko lwa baminisita eryoke essibwe mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...