TOP

Omugga Kakiinga gusazeeko oluguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2020

Omugga Kakiinga gusazeeko oluguudo

Kat1 703x422

Owabbooda ng’ayita mu mazzi n’ebyamaguzi.

ABANTU abakozesa oluguudo oluva e Mateete okudda e Lwengo bali mu kusattira olw’omugga Kakiinga okubooga ne gusala oluguudo ekivuddeko okukalubya ebyentambula mu kitundu kino.

Kino kyegattiddwaako obutindo n’ebigoma ebyateekebwamu okwabika ne bikola empompogoma z’ebinnya nga kizibu abeebidduka okuyitawo.

Abantu okusomoka omugga guno bamala kuggyamu ngoye n’engato okwewala okutoba. Bo abali mu kusomosa abantu n’ebyamaguzi bali ku mugano ng’omwana omuto bamusitulira ssente 2,000/- ate omukulu 5,000/- nga bwe kituuka ku bali embuto gujabagira kuba bakubisaamu emirundi ebiri.

Abavubuka ab’amaanyi kalantiini tebayisizza bubi kubanga bakeera ku mugga guno okwekolera ensimbi nga bano beeyawudemu ebibinja bisatu omuli abasitula abaana abato, ebidduka n’ebyamaguzi.

Abatuuze baatabukidde abakulembeze baabwe okuli minisita Sam Kuteesa, ababaka mu Palamenti Anifa Kawooya ne Joseph Ssekabiito kw’ossa Elly Muwummuza ssentebe wa sistulikiti okuba nga baabeerabira ne bakabatema nti kabatande bakomewo okubasaba obululu zijja kudda okunywa ssinga tebasitukiramu ku nsonga eno ebattudde mu kifuba.

Kansala akiikirira omuluka gw’e Kasambya-Kikukuulu, Joseph Ssebyala yasabye RDC w’e Ssembabule nti ssinga ababaka bano bazzaayo obukadde 20 obwabaweebwa gye buvuddeko baddaabirize omugga guno kubaly’ekkubo lye bakozesa okugenda mu butale ne mu malwaliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...