TOP

DP si mmativu na Gavumenti ku bya corona

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2020

DP si mmativu na Gavumenti ku bya corona

Buk1 703x422

Ssegona (ku kkono) ne Kakande.

EKIBIINA kya DP si kimativu ku ngeri Gavumenti gy’ekuttemu enkola y’okulwanyisa ssennyiga omukambwe ‘Corona’, ne bagamba nti abantu enjala ebali bubi, nga Pulezidenti Museveni asaana aggyewo omuggalo.

Baawadde ensonga 10 ze baagala Gavumenti ekoleko okutaasa embeera embi eriwo n’okuzza eggwanga engulu mu byenfuna.

Baagala Gavumenti eronde olukiiko olw’awamu olugenda okutunuulira abasinze okukosebwa ennyo, ate erage n’ensasaanya y’ensimbi zonna ezigiweereddwa. Gavumenti eteekwa okubonereza abaserikale abatulugunyizza abantu naddala aba LDU, ate babaggyeko emmundu zikwasibwe poliisi.

Bbanka Enkulu ekendeeze ku magoba ku bbanka z’obusuubuzi kubanga abantu bali bubi nnyo, ne Gavumenti eteekewo omutemwa ogw’enjawulo okubbulula abasuubuzi.

Amagoba mu bbanka enkulu ne mu bittavu bya Gavumenti balindeko okugagabana. Mu lukiiko lwa bannamawulire olwakubiriziddwa omuwandiisi wa DP omulonde, Medard Ssegona e Kamwokya, baagambye nti Gavumenti teyambye bantu ku mmere ate ng’erina ssente.

Baasabye ebibiina by’obufuzi byonna bissibwe ku lukiiko olukola ku nteekateeka zino bazze eggwanga engulu nti tewali nsonga lwaki Gavumenti ekyasibidde abantu awaka. Abalala ababaddewo ye; Kenneth Kakande, omwogezi ne ssentebe wa Wakiso, Matia Lwanga Bwanika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono