TOP

Poliisi eggazza abasuubuzi amaduukaPoliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2020

Poliisi eggazza abasuubuzi amaduukaPoliisi

Tip1 703x422

Omuserikale ng’agoba abasuubuzi.

POLIISI yakedde ku Lwokuna kugumbulula abasuubuzi ba sipeeya ku kizimbe kya Shamba Complex okuliraana akatale k’ewa Kisekka, abaabadde bagguddewo amaduuka n’ebalagira batambule okudda eka nga tebatunula mabega.

Ekibangirizi ekiriraanye akatale k’ewa Kisekka mu zooni ya Kagugube awakuhhaanira Bamakanika, abavubuka abaakazibwako erya ‘bakadeyideyi’ n’abooza mmotoka, olwabagumbuludde ne bayiwawo abaserikale ba miritare.

Ekibangirizi kino kye kiyitako ekkubo eriyita ku mwala erigguka ku Bat Valley ku Bombo Road. Abaserikale baabadde bakyalawuna we baasisinkanidde n’abantu abaabadde mu mmotoka Raum UAV 163Q, wabula bano tebaalinze kiddako, kwe kugibuukamu ne badduka nga balese bagiggadde enzigi zonna.

Poliisi yafunye kasiringi n’egitikka n’egitwala ku CPS mu Kampala nga bw’erinda nnannyiniyo annyonnyole ebintu bye baabadde batisse mu mmotoka eno, ggye baabiggye ne gye baabadde babitwala. Tewali muntu gwe baakutte wadde okukuba, wabula buli gwe baggazizzangawo edduuka nga bamulagira kudda waka.

Pulezidenti Museveni yakkirizza amaduuka agatali mu akeedi oba mu katale okuggulawo nga May 26 (Olwokubiri lwa wiiki ejja), kyokka ng’abagakolamu balina okwambala masiki ezikkirizibwa abasawo, ate nga balina n’okwewa amabanga, mu ngeri y’okwongera okuwanyisa corona.

Mu balala abakkiriziddwa Pulezidenti mwe muli aba mmotoka za buyonjo (nabo batandika nga May 26), ssaako aba takisi ne bbaasi abatandika nga June 4, nga bonna ssaako n’abasaabaze baabwe balina okwambala masiki ezikkirizibwa.

Akulira ebikwekweto ku CPS, Ivan Nduhura yakkaatirizza nti tebagenda kukkiriza muntu yenna kuggulawo dduuka mu kibuga naddala ago ag’omu akeedi ne Mall kubanga Pulezidenti tannaba kubakkiriza kuddamu kukola.

Yagasseeko nti n’abantu abakeera okutuula ku mbalaza, ssaako abajja mu Kampala nga tebalina mirimu mitongole nabo si baakukkirizibwamu okutuusa ng’embeera ey’obulwadde ezze mu nteeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono