TOP

Owa S6 bamugaanyi omulenzi we ne yetta

By Paddy Bukenya

Added 22nd May 2020

Owa S6 bamugaanyi omulenzi we ne yetta

Lab1 703x422

OMUYIZI wa S6 yesse lwa bazadde be kumunenya ku mulenzi gw’abadde apepeya naye mu luwummula lwa Corona.

Sumayiyah Nabukenya 18, omuyizi wa S.6 mu ssomero lya Light College Mpigi avudde mu mbeera ne yetta ng’akozesa akakaaya ke lwa bazadde kumugaana omulenzi gw’abadde ayagala.

Nabukenya asangiddwa nga yeetugidde mu nnimiro okumpi n’ewa kitaawe ku kyalo kye Bukandagana A mu ggombolola y’e Kalamba mu Butambala era nga yakozesezza kakaaya ke yabadde yeesibye ku mutwe ne yeetugira mu kasaka okumpi n’ennimiro w’abadde alima.

Kigambibwa nti Nabukenya okwetuga entabwe yavudde ku bazadde be okumukomako ku mulenzi gw’abadde apepeya naye asobole okumaliriza emisomo gye olwo n’afuna okutya. Abamu ku batuuze baategeezezza nti Nabukenya abadde mugezi nnyo mu ssomero era nga y’omu ku bayizi abasinga bannaabwe era nga bazadde be bamulinamu essuubi nga kiteeberezebwa okuba nga yandiba nga yabadde afunye olubuto ekyamutiisizza ne yetta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono