TOP

Emmere owoolubuto gy’alina okulya okuzimba obwongo bw’omwana

By Musasi Wa

Added 6th October 2011

OBWONGO bw’omuntu ky’ekitundu ekifuga enkola n’entabula y’ebitundu by’omubiri byonna. Y’ensonga lwaki abamu bakosebwa obwongo ne balemala nga bali mu mbuto za bannyaabwe olw’obulwadde obubalumba, obuzibu nga mu kuzaalibwa n’endya

2011 10largeimg206 oct 2011 154156103 703x422

 OBWONGO bw’omuntu ky’ekitundu ekifuga

enkola n’entabula y’ebitundu by’omubiri
byonna. Y’ensonga lwaki abamu bakosebwa
obwongo ne balemala nga bali mu mbuto
za bannyaabwe olw’obulwadde obubalumba,
obuzibu nga mu kuzaalibwa n’endya
 
y’abakyala nga bali embuto.
Fatuma Nakawooya, mutuuze w’e Nansana
agamba nti yazaala omwana we nga
mulamu bulungi. Nga wayise emyezi ebiri
yatandika okulwala omusujja ogwamutuuka
ku bwongo ekyavaako okuzing’ama.
 
Ku myaka ebiri n’ekitundu tasobola kutambula
wadde okwogera ng’abaana abalala
ab’emyaka gye.
 
Ye Margaret Buteme, agamba nti omwana
we ow’emyaka esatu yafuna obuzibu
ku bwongo nga kino kyava ku bulagajjavu
bw’abasawo abalwawo okumuzaalisa
ng’atuusizza.
 
Buteeme agamba ebisa byamulumira
wiiki nnamba okutuusa lwe baamussaako
eccupa ezaaleeta ebisa.
 
Wabula omwana yakwatibwa omusujja
nga wa nnaku bbiri era wadde gwawona
yatuuka ku myaka ebiri nga talina ky’akola
ng’abaana abalala.
 
Agamba nti, tebaasooka kumanyirawo
nga balowooza nti z’embeera
z’abaana.

Emmere owoolubuto gy’alina okulya okuzimba obwongo bw’omwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...