Ng’enda mu kaabuyonjo omulundi gumu gwokka buli lunaku. Kino kirimu obuzibu? Bw’oba ogenda mu kaabuyonjo (okufuluma) omulundi gumu gwokka oli mu buzibu kuba tegumala.
Waakiri wandigenzeeyo emirundi ebiri ku makya n’olweggulo okusobola okufuluma obucaafu obuba mu lubuto.
Yongera okulya ennyo emmere egonza olubuto ng’amenvu n’ebibala omuli ennaanansi.
Nnina obulwadde bwa ssukaali naye bwe ndya ebibala ate nfuna okusiiyibwa (kandida). Nkoze ntya? Obulwadde bwa ssukaali buva ku bintu ebisava omuntu by’alya ne bizibikira obutofaali okuzimbirwa omubiri.
N’olwekyo okubyewonya olina okunywa omubisi gw’ensujju n’okulya ebikoola ebya kiragala. Kandida ava mu kulya nnyo bintu ebikolerere ebiwoomerera nga bijjudde ekizimbulukusa nga keeki, bisikwiti, emigaati n’ebirala by’olina okwewala.
Ebikoola by’eng’ano birina omugaso gwonna?
Kituufu birina omugaso kuba bisobola okukola ng’enva endiirwa naddala bw’oba obiridde nga bibisi. Bisobola n’okukuwonya obulwadde bwa kookolo.
Okufuluma omulundi ogumu kikosa omubiri?