TOP

Gavt. yaakugema poliyo nju ku nju

By Olive Lwanga

Added 14th January 2016

“OBULWADDE bwa poliyo bukyaliyo era si bwa kusaaga”, Sam Gombya kansala w’abalema ku lukiiko lwa Kampala Central omu ku baalumbibwa poliyo akulambululira obulumi bwa poliyo omuzadde n’abaana bwe bayitamu.

Kabaka1 703x422

Ssabasajja ng'agema omwana bwe yali alambula essaza ly'e Ssese nga July 30,2015 ku mikolo gy'okukuza Amatikkira ge. EKIF: DICKSON KULUMBA

OBULWADDE bwa poliyo buzzeemu okuteeka abasawo ku bwerende era gavumenti n’erangirira okugema okw’ekikungo naddala mu bitundu ebiriraanye ensalo za Uganda, Sudan ne Congo olw’okubalukawo mu baliraanwa baffe bano. 

Wabula ne disitulikiti okuli: Kiboga, Kyankwanzi, Mityana, Wakiso, Kampala n’ebitundu by’eggwanga ebirala byonna nayo abaana baakugemebwa.

Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti okumala ennaku ssatu okuva nga January 22, okutuuka nga 25 abasawo abatendeke baakutambula nju ku nju nga bagema poliyo mu baana abali wansi w’emyaka etaano.

Kino kikoleddwa okusobola okumalirawo ddala obulwadde bwa poliyo mu Uganda yonna. Kino minisitule egenda kukikola ng’eyita mu mateeka n’enkola y’ekitongole ky’ensi yonna ekivunanyizibwa ku by’obulamu ekya WHO.

Agamba nti, okugema okw’ekikungo kwasemba okukolebwa mu October wa 2015.
“ Ku mulundi guno tukozesezza nkola ya nju ku nju kuba olwo tugema abaana bangi okusinga lwe tuyita abazadde okubaleeta”.

Tugenda kweyambisa abakulembeze b’omu bitundu okututambuza okututuusa mu maka ago agalimu abaana abagenda okugemebwa kuba bo babamanyi.

N’abaana abaagemebwako tekigaana kuddibwamu kuba tekirina mutawaana gwonna era eddagala lyongera maanyi mu baserikale b’omubiri.

“OBULWADDE bwa poliyo bukyaliyo era si bwa kusaaga”, Sam Gombya kansala w’abalema ku lukiiko lwa Kampala Central omu ku baalumbibwa poliyo akulambululira obulumi bwa poliyo omuzadde n’abaana bwe bayitamu.

“Nazaalibwa siriiko bulemu bwonna, wabula bwe naweza emyaka ebiri ne ndwala poliyo era okuva olwo nakula ndi mulema. Embeera gye nakuliramu teyali nnyangu kuba saakula na maama kuba yafa nkyali muto.

Okimanyi mu buto buli kye bakugamba kiba kikuluma, omwana omulema asosolebwa ate nga ne bato bannange babeera bannyimbirira ne kinnyiiza, naye bw’okula otuuka n’okimanyiira. Okubeera omuto ng’oli mulema ebintu ebimu bye wandibadde oyagala obireka kuba obeera tosobola kubyetuusaako oba okubyeweereza.

Bwe nali omuto ng’okusitula kinkaluubiriza kuba nali sisobola kwetengerera era nga bingi mbireka. Naye bw’okula bikyuka kuba kati ebisinga bye nneetaaga mbifuna olw’okuba n’omukyala n’abaana era bampeereza buli kye njagala.

Nakula ne jjajja nga tanneekaanya, yabeerangawo mu buli kimu era ye yaηηumya nti buli kimu kisoboka nneme kwekubagiza.

Yanzizangamu amaanyi, naye ebyembi yafa ndi mu S.4. Namuyigirako ebintu bingi ebinnyambye okuyita mu bulamu bw’ensi eno n’okugiwangula. Nkubiriza abazadde okukimanya nti ddala poliyo gy’ali era bafube okulaba nga bagemesa abaana baabwe okumwewala.

Nsaba Minisitule y’ebyobulamu okukozesa abantu abaliko obulemu okutuusa amawulire mu bazadde kuba buli muzadde lw’alaba ku muntu ayita mu mbeera eyo amanya nti kituufu obulwadde gyebuli ne bakkiriza okugemesa.

POLIYO KYE KI?

Dr. Robert Kajubi, ow’eddwaaliro ly’e Mulago agamba nti, poliyo bulwadde obukwata ebimu ku bitundu by'omubiri naddala amagulu, emikono n'ebirala nga buva ku buwuka obusirikitu obwa vayiraasi nga buva ku bucaafu naye nga busobola okugemebwa. Akawuka kano ebiseera ebisinga kayita mu kamwa ne katambula okudda mu byenda, mu magumba n'obusomyo bw'omubiri.

EBIVAAKO POLIYO

Dr. Farouk Muyingo, ow’eddwaaliro lya Mpigi agamba busobola okuva ku muntu omu ne budda ku mulala ssinga abantu babeera mu bitundu awalegama amazzi omuli obuwuka buno. Busobola okuva mu kunywa amazzi agalimu obuwuka obubeera mu mpitambi y'abantu. Busobola okuva mu kulya emmere oba ekintu ekijama nga kirimu obuwuka buno.

Bw’otobeera mugeme, osobola okubufuna singa ogenda mu ddwaaliro n’okwata ku byuma ebikozesebwa okukebera obulwadde buno.

OBUBONERO

 Okusannyalala ebinywa n'amagulu.

 Okuggwaamu amaanyi.

 Bw’abeera muntu mukulu atera okulumwa omutwe.

 Bw’abeera mwana muto atera okufuna olusujjasujja olutagenda.

 Okukololakolola mu baana.

 Okwesika.

 Obulumi mu magulu n'emikono.

 Olumu wabaawo obulumi mu ndira, okusesema n'olubuto okwesiba.

ABALI MU KATYABAGA

Dr. Dan Isabirye ow’eddwaaliro ly’e Mulago agamba nti, waliwo abantu abalina emikisa mingi egy'okufuna obulwadde buno omuli:

1 Abakyala abali embuto olw’obwerinzi bwabwe obw’omubiri okubeera obunafu.

2 Abaana nabo obwerinzi bw'omubiri bubeera wansi.

3 Abantu abalina akawuka ka siriimu nabo bali mu katyabaga.

4 Ssinga omuntu abeera teyagemebwa poliyo n’abeera n’omuntu abulina. 5 Abaana abaakonziba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lindako1 220x290

Abaafeze omusuubuzi w’e South Afrika...

ABASAJJA basatu abagambibwa okubeera mu kabinja k’abafere ba zzaabu mu Kampala, abaafera omusuubuzi w’e South Afrika...

Muserikale 220x290

Omuserikale wa poliisi gwe baakutte...

EDDOBOOZI lya Gideon Mbirire eryesembyeyo okuwulirwa lyabadde nti ‘temunzita eby’emmundu sibimanyi’. Kyokka bakira...

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...