TOP
  • Home
  • Asiika Obulamu
  • Ebintu 5 omunywi w’omwenge by’alina okukola okukendeeza obulabe bwagwo

Ebintu 5 omunywi w’omwenge by’alina okukola okukendeeza obulabe bwagwo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th February 2016

Ebintu 5 omunywi w’omwenge by’alina okukola okukendeeza obulabe bwagwo

Kam2 703x422

Okulya ennyama emmyuufu kukendeeze. Ku ddyo, omwenge nagwo gwa bulabe.

OMUGONGO oguluma, olubuto olwesiba, omutwe ogutakuvaako, okubongoota, okukoowakoowa, amannyo agajjudde ebituli n’ebizibu ebirala byonna biva ku nneeyisa yo.

Wali ofuddeyo okwetunulamu n’olaba engeri gye weeyisa mu byendya, entambula, emirimu gy’okola n’omanya engeri gye biyinza okuttattana obulamu bwo oba okukuwangaaza? Nga tukuza olunaku lw’ebyobulamu obukwata ku nneeyisa yaffe enkya, abasawo ab’enjawulo batulabudde ku bulabe obuli mu mize ate n’okukuuma obulamu.

Dr. Farouk Muyingo owa Mpigi Hospital, agamba nti emize gy’abantu gye gibasibyeko endwadde. Bangi banywa omwenge nga bawa ensonga y’okwemalako ennaku kyokka nga bakosa mubiri. Abamu bafuuweeta sigala nga bagamba abamalako ebirowoozo n’okweggyamu empewo. Abavubuka bangi bacakala buli lunaku awatali kuwummula ekikosa obwongo.

Abalala beesibako ebirowoozo olw’embeera gye babaamu kyokka ng’ono ye mulabe asooka mu kusaanyaawo obulamu. Ebyokulya bingi biwooma kyokka nga bwe bituuka mu mubiri bufuuka butwa.

ENDWADDE EZIVA KU NNEEYISA

Dr. Robert Kajubi, ow’eddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti waliwo endwadde nnyingi ze tufuna okuva ku nneeyisa yaffe. 1 Endwadde eziva ku kubeera n’amasavu amangi agava ku bisiike n’ebittafuttafu bye twesibirira okulya mulimu ez’omutima.

Zino ziva ku masavu okukwata mu misuwa egitambuza omusaayi puleesa n’erinnya olw’amaanyi agalina okukozesebwa okugutambuza. 2 Omugejjo ogw’obulabe ku bulamu nagwo guva ku kulya bisiikesiike oba eby’amasavu agasusse. 3 Mmotoka mwe tutambulira naddala ez’olukale zisaasaaniramu endwadde ez’omu mpewo nga ssennyiga, akafuba, n’endala olw’abantu okugaananga okuggula amadirisa empewo n’etambula.

4 Endwadde eziva ku bujama nnyingi ziyita mu ngalo kuba tukwata buli we tusanze n’abamu okugenda mu kaabuyonjo kyokka ne batanaaba mu ngalo kuzitukuza nga bavuddeyo. 5 Tugula ebyokulya ebitundibwa mu ppaaka n’ebifo ebirala kyokka nga bipakiddwa bubi n’ebimu obutasabikibwa.

mukyala ngakongola nnakati Omukyala ng’akongola nnakati.

 

Enfuufu, obuwuka n’obujama obwa buli kika ne bubiggweerako kyokka ne tutabirongoosa nga bweDR. Ambrose Niwagaba ow’e Mulago, agamba nti abafuuweeta sigala omugwa ne shisha balowooza nti mulembe kyokka nga beeziika olw’okutta amawuggwe, ensigo n’ebitundu by’omubiri ebirala omuli n’obwongo.

Olususu lufa olw’obutwa obuva mu sigala okulukosa. Lujja enkanyanya, lwengerera, ne lukaddiwa. Engalo n’engalo biddugala, amannyo gafuuka ga kyenvu. Omusaayi gutaataaganyizibwa ne gutatambula bulungi mu mubiri ekivaako okulwala.

Abeembuto abanywa sigala bakosa obulamu bw’abaana okuva ku bwongo okutuuka ku mubiri. Tebaggwaako ssennyiga, bifuba ne asima abatawaanya. Mmwe abakyazaala nga mwettanira sigala muli mu buzibu kuba atta obusimu obuvunaanyizibwa ku kugenda mu nsonga n’ogumbawala.Kookolo ow’ebika eby’enjawulo tomwebalaabala.

OMWENGE GUWOOMA NAYE GWA BULABE

Dr. Farouk Muyingo owa Mpigi Hospital agamba nti, abettanira omwenge nabo bali mu matigga. Agamba nti, omwenge gukosa akalulwe akandibadde kasengejja obucaafu mu mubiri ne kivaako obutwa okusigala mu musaayi ekirwaza omubiri gwonna. Gukosa ensigo ne zitasengejja bulungi butwa mu mubiri.

Guvaako okwerabiralabira olw’okukosa obwongo. Guvaako kookolo w’ebyenda, puleesa, okusannyalala, endwadde z’omutima n’omutima obutakola bulungi. Omwenge gubuza amaanyi g’ekisajja naddala bw’oguyitiriza. Gwanguya omukazi okukoma okugenda mu nsonga.

BY’OKOLA OKWETANGIRA OBULABE

1 Kendeeza ku bungi bw’onywa buli lunaku. 2 Nywa omubisi gw’ebibala oba amazzi buli lw’ogunywa kuba kiyamba okwoza omubiri n’okufulumya obutwa.

Enniimu kimu ku bibala ebiyamba okwoza obutwa mu mubiri, era ssinga ogikozesa buli lw’onywa omwenge kikuyamba okukendeeza obubeera buyingidde mu mubiri.

3 Lya emmere erimu ebiriisa nga ya bika eby’enjawulo okusobola byonna okubifuna.

4 Enva endiirwa nnungi kuba ziyamba ku kusala emmere gy’olya n’esobola okuvaamu ebiriisa ebyetaagibw aomubiri n’okufulumya eteetaagibwa mu mubiri ekitangira obutwa.

5 Fuba okulaba ng’olya bulungi n’okkuta wadde bangi ku banywa omwenge tebatera kwagala kulya olw’okuba gutta omwoyo ogulya.

6 Laba omusawo buli luvannyuma lw’ebbanga akukebere okulaba nga tolina buzibu era bwe kiba kyetaagisa akuwe obujjanjabi.

OBUTEEBAKA BULWAZA OMUTIMA

Obutawummula kimala kiremesa omuntu okulowooza kuba obwongo bubeera bukoowu. Kirwaza omutima ne gukubira kumukumu n’okwewuuba. Kivaako okulwala sukaali.

WALIWO ebintu ebimu omuntu by’asobola okukola oba okulya okusobola okubeera n’obulamu obulungi nga bweyagaza.

Dr. Beccy Nakalema, omukugu mu by’emmere okuva mu ddwaaliro e Mulago agamba nti abantu bamala gakwata obulamu bwabwe. Waliwo abalowooza nti okulya ennyama kwe kulaga nti oli mugagga oba okulya obulungi ekitali kituufu.

Omuntu okubeera omulamu obulungi alina okuba ng’asobola okwefaako okuviira ddala mu kulya nga alya enva endiirwa oba ebivava bino biyamba ku bulamu bw’omuntu n’okwongera omusaayi mu mubiri.

Okwewala okulya ebisiike naddala abo abakozesa butto emirundi egisukka mu gumu nga bamusiikisa ne bamutereka ne baddamu ne bamukozesa bali mu bulabe. Okulya ebibala waakiri emirundi esatu olunaku ate olina kubigula mu katale nga bikyali bipya si eby’oku kkubo.

Okwewala okunywa ebintu nga sooda olw’ebiragalalagala ebissibwaamu. Obutalya masavu kuba galwaza omutima.

Okunywa amazzi waakiri giraasi eza miiru 300 mukaaga olunaku, gano gayamba okwoza obutwa mu mubiri.

Okunywa sukaali nga waakigero. Okwewala okweraliikirira kuba kuvaako omuntu okulya ekisusse n’afuna omugejjo mu bamu. Okukola dduyiro naddala okutambula okusinga okudduka kuba bw’odduka omubiri gwesala mangu ate bw’okuvaako ne gukomawo bubi. Bw’otambula omubiri gwesala mpolampola.

CIPUSI ZIRWAZA AMAWUGGWE

Okulya enkoko enjokye ne cipusi kirwaza kookolo w’amawuggwe olw’omukka ogubivaamu gw’oyingiza ng’obirya. Cipusi olw’okusiikibwa mu butto zinnyikira olwo azirya n’ayingiza masavu ag’obulabe mu mubiri ekirwaza.

Omunnyo omungi nagwo gukwata ku misuwa ekivaako omusaayi obutatambula bulungi. Ekirala, gulinnyisa puleesa eky’obulabe. Kiba kirungi omuntu n’alya ebintu nga kawo, ebijanjaalo, n’ebirala ebirimu ebiriisa n’amasavu ag’obutonde ag’omugaso mu mubiri. Tolya nnyama mmyuufu kisusse kuba si nnungi ku mubiri.

Bw’oba ogiridde waakiri kikole omulundi gumu mu mwezi. Kiba kirungi n’osooka ogikalirira okugikamulamu amasavu ag’obulabe eri omubiri olwo n’ogifumba.

Wettanire enkoko ng’oggyeeko eddiba, ebyennyanja, n’ennyama endala enjeru n’ebirala. Bwe kiba kisoboka gifumbe nga togisiise oba kozesa butto ava mu birime ng’ebinyeebwa ne Olive oil.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...