TOP

Abasawo balabudde abakyala okwegendereza enkozesa ya pawuda

By Edward Sserinnya

Added 27th February 2016

Abakugu bazudde nti ekirungo ekya Talcum ekitabulwa mu pawuda wa Johnson ono kirwaza n’endwadde endala.

Pawuda 703x422

Omukyala ng’akuba omwana we pawuda wa Johnson.

OLUVANNYUMA lwa kkooti mu Amerika okusingisa kkampuni ya Johnson and Johnson ekola pawuda wa Johnson Baby Powder n’ebikozesebwa ku nsusu ebirala olwa pawuda waabwe okuvaako kookolo w’amagi eyatta Jacqueline SalterFox, 62.

Abakugu bazudde nti ekirungo ekya Talcum ekitabulwa mu pawuda ono kirwaza n’endwadde endala.

TALCUM ALWAZA NE KOOKOLO W’EMISUWA

Dr. Steven Mukasa, owa St. Vincent Hospital e Mengo agamba nti, ekirungo kino ekya Talcum kireetawo embeera y’okulwala kookolo.

Abakoze okunoonyereza ku kirungo kino balaga nti kisobola okulwaza kookolo w’amagi naddala mu bakyala abamukozesa mu bitundu byekyama.

Okugeza waliwo abakyala abateeka pawuda mu bupaadi obunywa amazzi n’ebirala okukuuma empale zaabwe nga nnyonjo.

Annyonnyola nti, n’abantu abakola mu birombe naddala eby’amayinja ne zaabu wabaawo eminnyo egibaamu ekirungo kya Talcum nakyo ekibateeka mu bulabe bw’okulwala kookolo w’emisuwa.

 

ABAKUGU MU BYA KOOKOLO BALABUDDE

Abakugu mu bya kookolo bannyonnyodde ku kirungo kino na wa Bannayuganda we bayimiridde ku kookolo ava ku pawuda.

Dr. Noleb Mugisha agamba nti, ekirungo kino kisobola okuteekawo embeera evaako kookolo kuba kirimu eminnyo egyongera okutta obutoffaali ne buvaamu kookolo.

Wabula embeera z’abantu zaawukana okusinziira ku kikula kyabwe mu butonde.

Mu Uganda abantu abalina akawuka akaleeta siriimu n’omusujja gw’ensiri babeera mu katyabaga k’okukwatibwa kookolo ow’ebika eby’enjawulo okuli n’ow’amagi.

Abakyala abasinga okufuna kookolo w’amagi abeera wa mu musaayi.

Wabula waliwo n’ebintu ebirala ng’abakyala okulwawo okuzaala, omugejjo, okunywa sigala, omwenge ogususse, ebisiike ebisusse naddala bye bafumba mu butto addiηηanibwamu emirundi emingi, n’ebirala bingi nabyo bibateeka mu buzibu bw’okulwala kookolo.

Naye kookolo ava ku pawuda tubadde tetunnamufunako wano mu ggwanga. Ate bwe kibaawo kisobola okuba nga kyongereza ku kizibu ekirala ekirwaza kookolo.

Okugeza mu bantu abalina endwadde ez’olukonvuba. Wadde nga Talcum abeera mu pawuda n’ebyokwenyiriza ebirala, waliwo okunoonyereza okulaga nti aleeta kookolo.

Pawuda wa Johnson asinga akozesebwa mu Uganda aggyibwa Kenya ne South Afrika.

Wabula abamu ku basuubuzi bamutereka bubi, oluusi n’ayitako ennaku olwo n’afuuka ow’obulabe eri amukozesa.

Twagezezzaako okufuna akulira kkampuni ya Translink Ug Limited, abavunaanyizibwa ku kutuusa wano ebyamaguzi bya Johnson, nga tali mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...