TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omukazi anoonya oluzaalo togayaalirira lukandwa

Omukazi anoonya oluzaalo togayaalirira lukandwa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2016

OKUBULWA omwana kimu ku bintu ebisinga okunyiga. Ggwe ayagala okufuna omwana kikwetaagisa okufuna eddagala ly’oluzaalo asobole okubuusa ku bbebi mu mwaka guno.

Twala1 703x422

Omukyala ng’anoga ebikoola by’olukandwa.

OKUBULWA omwana kimu ku bintu ebisinga okunyiga. Ggwe ayagala okufuna omwana kikwetaagisa okufuna eddagala ly’oluzaalo asobole okubuusa ku bbebi mu mwaka guno.

Eddagala ku nsonga eno, funa olutungotungo, ekiggamansole, olukandwa, akafugankande, ekifumufumu, omussa n’entungo. Eddagala lino likaze, lisekule okufunamu ensaano.

Ensaano eno ginywere ku caayi ayokya naddala mu biseera ng’ennaku zo ez’ekikyala zisembera. Lino lijja kuggulira enseke enkwaso zisobole okutuuka obulungi ku magi g’omukazi.

Obuzibu bwe buba buvudde ku bizimba mu lubuto okubijjanjaba funa emirandira gy’olusambya, egy’olukandwa n’ebikoola byakwo, ebibajjo by’ekkajjolyenjovu n’emirandira gy’akakwansokwanso n’ekyewamala.

Bifumbe ng’otademu omunnyo gw’ekisula n’oluvannyuma tandika okunywako mu bipimo ebisaanidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...