Musawo Jannifer Kalungi omukugu mu kubudaabuda abantu ku nkola za kizaalaggumba n’okwerinda endwadde z’ekikaba okuva mu ddwaaliro e Mengo agamba nti kondomu ziyinza okuba ez’obulabe nga togoberedde biragiro byazo oba ng’ozikozesezza bubi.
- Sooka osome ebiragiro ebyawandiikibwa ku kaveera ka kondomu ku ngulu nga tonnaba kugisumulula.
- Weekenneenye ennaku z’omwezi kondomu gy’ogenda okugula olabe ebbanga ly’olina okugikozesezaamu.
- Sumulula akaveera ng’okozesa engalo so si njala ate tokozesa kintu ekisongovu kyonna.
- Yuza akaveera akasabika kondomu ku nsonda yako kuba bw’ogiyuliza wakati nayo oyinza okugiyulizaamu.
- Gisseeko ng’obusajja bwereeze bulungi okusobola okugendako obulungi. Giteekeko ng’ogirandulula okuva ku mutwe okweyongerayo.
- Bw’oba oyambala kondomu y’ekikazi; Sooka onaabe engalo zitukule olyoke ogikwateko kuba eyingira mu mubiri munda erina okuba ennyonjo.
- Yuza akaveera ku nsonda oggyemu kondomu gy’ogenda okukozesa.
- Kondomu erina obuweta bwamirundi ebiri, akali munda n’akali ku mugo.
- Kwata akaweta akali munda kanyigire mu bukyala.
- Bw’eba eyingide bulungi, ejja kweyanjuluza yokka.
- Oluvanyuma, kwata akaweta akali ku mugo okanjuluze.