TOP

Yiga enkozesa ya kondomu entuufu eteekulwaze kookolo

By Ruth Nazziwa

Added 2nd June 2016

Enkozesa oba enkwata ya kondomu embi eyinza okukuleetera endwadde. Abakugu bazudde nti kondomu ezaayitako ennaku oba ezikwatibwa obubi ziyinza okukusiiga kookolo naddala w’obusajja.

Pala 703x422

Obufaananyi abasawo kwe basomeseza ennyambala ya kondomu entuufu okuva ku 1 - 3.

Enkozesa oba enkwata ya kondomu embi eyinza okukuleetera endwadde. Abakugu bazudde nti kondomu ezaayitako ennaku oba ezikwatibwa obubi ziyinza okukusiiga kookolo naddala w’obusajja.

Kondomu zikozesebwa okwetangira endwadde z’obukaba n’okufuna embuto z’oteeyagalidde.

Obutazifunamu buzibu olina okugenderera ekika, enkozesa, enkwata n’obuwangaazi bwayo.

Dr. Godfrey Sekabira okuva mu Buyege Health Centre 1V agamba nti enkwata, enkozesa n’entereka ya kondomu eyinza okukulwaza oba okufuna olubuto lw’oteeyagalidde oba endwadde endala nga kookolo.

Ezimu ku ndwadde z’oyinza okufuna mulimu eza yinfekisoni, alaje, kookolo, enziku, obulwadde bw’ekibumba, kandida, oba kabootongo.

Kondomu bw’eba ekwatiddwa bulungi esobola okuwangala emyezi egisoba mu mukaaga.

Zeetaaga ekifo ekiweweevu ate nga kikalu bulungi .

Kondomu lw’efuuka ey’obulabe

Okusinziira ku mawulire ga Daliy Mail, mu kukola kondomu, empanka n’ebintu ebirala bassaamu ekirungo kya ‘2-mercaptobenzothiazole’ ekiyamba okubikuuma nga biri ku mutindo.

Wabula ssinga kondomu ekuumibwa mu bbugumu eringi nga bw’olaba abatambula nazo mu nsawo ekirungo kino kyefumba ne kifuuka kya butwa. Ssinga okozesa kondomu eno okwatibwa kookolo w’obusajja.

 yotalina kukola ngosumulula kondomu By’otalina kukola ng’osumulula kondomu.

 

Dr. Godfrey Sekabira agamba nti kondomu olina okuzikwata obulungi obutakulwaza nga;

1. Entereka enkyamu kiddiriza omutindo gwa kondomu. Waliwo abazitereka mu nsawo z’empale, mu waleti oyinza okugifunya n’otta omutindo.

Tolina kubeera mu kifo muli bbugumu oba awali obunnyogovu obusukkiridde.

2. Ebbugumu liyinza okuzisaanuusa ekireeta obutuli bwazo okuleeguuka.

3. Okuzitereka obubi kiyinza okuvaako kondomu okukala ekiyinza okugibeerera ekyangu okuyulika wakati mu kikolwa. Mu mbeera eno, emikisa ky’okufuna olubuto n’endwadde gyeyongera.

4. Jjukira kondomu gy’ekoma okukaddiwa, emikisa gyayo egy’okwabika nga gyeyongera. Kakasa nti weekenneenya ennaku z’omwezi nga tonnaba kugisumulula.

5. Ssinga ogisumulula bubi Waliwo abasumulula akaveera ka kondomu n’enjala ate nga mpanvu, abakozesa makansi, akambe n’ebintu ebisongovu ebirala ebiyinza okuzireetako ebituli mu butanwa ate n’otokimanya ekyongera ku mikisa gy’okufuna akawuka oba olubuto.

6. Ssinga ogiyiwako ekintu kyonna ekikosa omutindo gwa kondomu.

7. Ssinga ogyambala bubi; Kondomu bw’ogyambala obubi eyinza okuvaako okufuna obulwadde.

8. Kakasa nti engalo zo nyonjo nga tonnaba kugikwatako kubanga eyingira mu mubiri munda, ssinga ogikwatako engalo encaafu, kiziyinza okugendako obuwuka ekiyinza okuvaako okufuna yinfekisonizi eziva ku bujama.

9. Kikyamu okukozesa kondomu omulundi ogusukka mu gumu. Mulimu abalowooza nti bw’eba teyulise osobola okuddamu n’ogikozesa. Wano eba esaana kusuulibwa.

10. Pakiti omuli kondomu terina kubeerako katuli. Okukakasa kino bw’onyiga ku pakiti empewo yaamu tefuluma.

Bw’efuluma kiraga nti mulimu akatuli. Pakiti bw’eyingiza empewo eyonoona omutindo gwa kondomu n’ekuyulikako oba okubaamu obutuli.

Kondomu tezisobola kukukuuma ebitundi 100 ku 100 wabula, bw’oba ozikozeseza bulungi zikendeeza ku mikisa gy’okufuna obuzibu obuva mu kwegatta n’obutafuna lubuto .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke