TOP

Abakugu bazudde endwadde 5 z’ofuna okuva mu kaabuyonjo

By Olive Lwanga

Added 16th June 2016

Obuzibu bw’oyinza okufuna ng’otuula ku kaabuyonjo Dr. Ambrose Nuwagaba ow’eddwaaliro ly’e Mulago agamba nti wadde abantu baagala okukyuka n’embeera ne bakozesa kaabuyonjo ez’okutuulako mu kifo ky’ez’okusitama baba beereetera bizibu.

Toyi1 703x422

Omwana mu kaabuyonjo.

Bya OLIVE LWANGA

Kiri mu butonde nti buli muntu alina okukozesa kaabuyonjo, noolwekyo zirina okubeera buli wamu. Waliwo kaabuyonjo ez’enjawulo wabula ennaku zino abasinga baagala kukozesa zaakutuulako nga bagamba nti tezibakaluubiriza kukozesa.

Abantu abasinga bwe baba bazimba enju oba ebifo ebitali bimu basinga kuzimba kaabuyonjo za kutuulako okusinga ez’okusitamako.

Balowooza okussaawo kaabuyonjo ey’okutuulako oba otambula n’amulembe naye ne batakimanya nti obulamu bwabwe buba mu katyabaga.

Obuzibu bw’oyinza okufuna ng’otuula ku kaabuyonjo Dr. Ambrose Nuwagaba ow’eddwaaliro ly’e Mulago agamba nti wadde abantu baagala okukyuka n’embeera ne bakozesa kaabuyonjo ez’okutuulako mu kifo ky’ez’okusitama baba beereetera bizibu.

  

 Enkozesa ya kabuyonjo eyokutuulako

Waliwo endwadde ezitali zimu omuntu z’asobola okufuna ng’atudde ku kaabuyonjo omuli;

1. Olubuto okwesiba Abantu abasinga abatuula ku kaabuyonjo nga bafuluma bafuna obuzibu bw’olubuto okwesiba. Wabula eky’ennaku abantu balwawo okukimanya nti olubuto lwesiba oba bakaluubirirwa okufuluma oluusi.

Omuntu omulamu obulungi alina okugenda mu kaabuyonjo emirundi egitakka wansi w’esatu olunaku.

2. Ensundo z’emabega: Buno bubeera buzimba obuzimba okumpi n’ekifo awa gulumira obubi ng’akiva ku musuwa ogusangibwa mu bitundu ebyo okuzimba. Bw’oba oyimiridde oba ng’otudde obeera olina ebifo ebimu by’onyiga munda mu mubiri ne biremesa obubi okufuluma n’otandika kwekkama ekivaamu kuzimba busundo kubanga omusuwa obeera ogukaka gusobole okuyisaawo obubi.

3. Okufulumya omusaayi mu bitundu awava obubi Buli lwe wekkama emabega weereega ekivaamu kufuna njatika ne waleeta n’omusaayi gw’oba teweetegekedde.

4. Endwadde z’ekyenda ekinene Okufulumya obubi bwonna ne buggwaamu kiyamba okukuuma ekyenda ekinene nga kiramu bulungi. Ebiseera ebisinga omuntu bw’atuula atera obutafulumya bubi kuggwaayo olw’obunkenke bw’abaamu ate buli lwe busigalamu engeri ebintu ebimu bye tulya bwe biri eby’obutwa ekyenda kiyinza okumaliriza nga kirwadde.

5. Okulumbibwa endwadde eziva ku bujama: (uti) Okufuuyisa kwanguyira abakyala naddala nga basitamye. Akawago kakalira bulungi ng’asitamye okusinga ng’atudde.

Era okusitama kuyamba okukendeeza ku mikisa gy’okufuna obulwadde obuleetebwa obuwuka obusirikitu obukuyingira mu miwaatwa omuyita omusulo. W’omanyira nti ofunye obuzibu oyinza okutandika okulumizibwa ng’ofuuyisa omusulo ate oba ofuuyisiza kumukumu.

Dr. Robert Kajubi mu ddwaaliro ly’e Mulago agamba nti endwadde endala z’oyinza okufunira ku kaabuyonjo ez’okutuulako mulimu kandida.

Ssinga omuntu alina kandida agenda mu kaabuyonjo ey’okutuulako n’avaayo nga tagiyonjezza bulungi addako okugikozesa ayinza okumukwata.

 ku kkono ate ku kkono ate

 

Mu ngeri y’emu omulwadde w’enziku ng’akozesezza kaabuyonjo ey’okutuulako n’atagiyonja obulwadde abusaasaanya. Dr. Farouk Muyingo ow’eddwaaliro ly’e Mpigi agamba nti wadde ng’abantu baagala okutuula ku kaabuyonjo okusinga okusitamako, tebakimanyi nti okusitama kulina ebirungi bingi omuli;

i. Omuntu ayanguyirwa okufulumya obubi okusinga oyo atuddeko obutuuzi. Kino kiyamba okufulumya obucaafu bwonna ekiyambako okukendeeza ku mikisa gy’okufuna kookolo w’ekyenda, amayinja mu lubuto n’ebirala.

ii. Kikuuma emisuwa oba ebinywa by’obusajja, akawago, n’omumwa gwa nnabaana obuta- Kookolo w’ekyenda asinga tumuggya mu kaabuyonjo funa nkwagulo na kukosebwa.

iii. Kiyamba okukuuma akabubi akali wakati w’ekyenda ekinene n’ekyenda ekitono. Mu kutuula ekifo kino kikosebwa era ne kitandika okutonnya obucaafu ne butataaganya ekyenda ekitono ekintu ekitali kituufu.

iv. Ekozesa ebisambi okukuuma n’okuwanirira ekyenda ekinene ne kitakoowa oba okukaluubirirwa. Ekyenda bwe kyekaka ng’omuntu ali ku kaabuyonjo kivaako okulwala aniya n’endwadde endala.

v. Enkola eno eyamba ku nsundo obutajja ate ekirungi ensundo zino zisobola okuwona zokka.

vi. Ku bakyala abali embuto, okusitama kuyamba okukendeeza ku buzito obuteekebwa ku nnabaana ng’omukyala abadde akozesa kaabuyonjo.

Okusitama buli lunaku kiyamba okuteekateeka omukyala ali olubuto okwetegekera okuzaala obulungi n’okukendeeza ku mikisa gy’okuzaalira ku kiso. vii. Okusitama kuyamba okukendeeza ku mikisa gy’olubuto okwesiba.

viii. Okusitama kuyamba ebinywa okweta ne biteesiba ne kisobozesa obucaafu okutambula obulungi ne bufuluma ng’omuntu takalubiriddwa nakatono.

Dr. Kajjubi agamba nti okusigala nga tuli balamu okusitama ku kaabuyonjo kye kisinga obulungi kubanga emikisa gy’okufuna obulwadde giba mitono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”