TOP

By’okola okutangira okuzaala omwana atannatuuka

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2017

“Tukyalina okusoomoozebwa kw’abasawo abakugu mu by’abaana abali mu mbeera zino kuba woodi eno etwala abaana 50 kyokka oluusi wabaawo omusawo omu ate nga n’obukugu bwaffe bukyabulamu”, Dr. Mpalampa bwe yategeezezza.

Pre1 703x422

Dr. Margaret Mpalampa ow’omu ddwaaliro e Mengo ng’alaga omwana ali mu kyuma ekikuumirwamu abaana abazaalibwa nga tebannatuuka okubuguma.

Bya HERBERT MUSOKE

DIANA Mayengo yazaala omwana n’afuna yinfekisoni era n’abikkibwa mu kyuma nga wa wiiki emu mu ddwaaliro e Mengo okutaasa obulamu bwe.

“Abasawo bangambye nti, omwana yafuna yinfekisoni nga nnaakamuzaala. Bwe namutuusizza mu ddwaaliro ne bamussa mu kyuma okumubikka nga tasobola kuyonka wabula mu kiseera kino yateredde era yatandise okuyonka obulungi,” muky. Mayengo bwe yagambye.

Ono y’omu ku bazadde abalina abaana abeetaaga okubikka olw’obuzibu obw’enjawulo bwe bazaalibwa nabwo omuli okukoowa, okufuna obulwadde bwa kamuli, yinfekisoni n’ebirala era nga yabadde musanyufu olw’okubeera asoose okukozesa ekyuma ab’ekitongole kya Joint Medical Stores bye kyawadde eddwaaliro e Mengo.

 r palampa ku ddyo nomusawo omulala nga bakozesa ekimu ku byuma ebikebera abaana abazaalibwa nga tebannatuuka ebyabaweereddwa Dr. Mpalampa (ku ddyo) n’omusawo omulala nga bakozesa ekimu ku byuma ebikebera abaana abazaalibwa nga tebannatuuka ebyabaweereddwa.

 

Dr. Margaret Mpalampa, akulira woodi y’abaana eya Nassolo mu ddwaaliro e Mengo yagambye nti woodi eno ekozesebwa okulabirira abaana abafunye obuzibu nga baakazaalibwa naddala abo abatazaaliddwa mu ddwaaliro, abaweerezeddwa okuva mu malwaliro amalala naddala aga KCCA, abalondeddwa ku kasasiro, abannyuluddwa mu kaabuyonjo n’abalala.

Yeebazizza aba JMS okubawa ebyuma omuli; ebibikka abaana, ebibapima n’okubakuuma okutuuka nga bateredde ekijja okukendeeza ku muwendo gw’abafa.

Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu mu Uganda, abaana 14 ku buli 100 be bazaalibwa nga tebannatuuka, era ebizibu ebifunibwa olw’abaana okuzaalibwa nga tebannatuuka bivaako 31 ku buli 100 okufa ate abawonawo ne bafuna obukosefu obw’enjawulo.

Dr. Mpalampa yagambye nti, ssinga omwana ayanguyirwa okufuna obujjanjabi, asobola okutaasibwa wabula wakyaliwo obwetaavu bw’ebyuma okulaba nga basobola okuwa buli mwana alina obuzibu obuyambi n’obujjanjabi bwe yeetaaga mu budde okutaasa obulamu.

“Tukyalina okusoomoozebwa kw’abasawo abakugu mu by’abaana abali mu mbeera zino kuba woodi eno etwala abaana 50 kyokka oluusi wabaawo omusawo omu ate nga n’obukugu bwaffe bukyabulamu”, Dr. Mpalampa bwe yategeezezza.

 iana ayengo nomwana we mu ddwaaliro Diana Mayengo n’omwana we mu ddwaaliro.

 

Ebivaako omwana okuzaalibwa nga tatuuse

Dr. Patrick Luwaga, okuva mu ddwaaliro e Mengo yagambye nti ebimu ku bireeta embeera eno kuliko:

1 Nnabaana okunafuwa n’alemererwa okuwanirira omwana ekivaako olubuto okuvaamu oba omwana okuzaalibwa nga tannatuuka.

2 Yinfekisoni ez’enjawulo omuli kabootongo naddala nga tezijjanjabiddwa mangu oba bulungi.

3 Enneeyisa ya maama, okugeza okunywa ebitamiiza n’ebiragalalagala kikosa omwana era asobola okuvaamu nga tatuuse.

4 Abawala abazaala nga tebannaweza myaka 18, nabo babeera mu katyabaga kanene okuzaala abaana abatatuuse.

5 Okutulugunyizibwa mu maka ekivaako obubenje obuyinza okukosa omwana n’avaamu nga tannatuuka.

6 Omusujja ogutajjanjabwa bulungi ate mu bwangu guvaako okuzaala omwana atatuuse.

7 Obulwadde nga puleesa, sukaali, akawuka ka siriimu n’obulwadde obulala bunafuya obwerinzi bw’omubiri n’olwalalwala ekikosa omwana abeera mu lubuto. 8 Ng’olina abaana bangi mu luboto (abakazi abazaala By’okola okuziyiza okuzaala omwana ow’okubikka abaana abawera omulundi gumu).

9 Omwana ataatonda bulungi oba ng’aliko obulemu obw’amaanyi atera okuvaamu nga tannatuusa.

10 Okuzaala ng’okuliridde mu myaka.

11 Embubi za nnabaana okuyulika ne zeeyawula ku kisenge ng’omwana tannatuuka kuzaalibwa.

12 Obutaba na musaayi naddala ng’obadde tolya bulungi.

13 Obubenje

 

By’olina okukola okuzaala omwana akuze obulungi

l Okugenda mu ddwaaliro nga bukyali okusobola okufuna obujjanjabi obw’enjawulo mu kiseera ekigere ekikuweebwa.

l Okumira eddagala erigema omusujja ng’omusawo bw’aba akulagidde.

l Okunywera eddagala mu ddwaaliro awali abasawo abakugu bakwekebejje n’okukujjanjaba nga kyetaagisizza naddala abalina akawuka ka siriimu, sukaali, puleesa, omusujja n’endala ekikusobozesa okuzaala omwana omulamu obulungi.

l Ekirala babasomesa ku ngeri gy’olina okulyamu ng’oli lubuto kikusobozese okufuna amaanyi, omusaayi, ebiriisa n’ebirungo eby’enjawulo omubiri bye gwetaaga. Okunywa ennyo amazzi n’omubisi gw’ebibala, okulya ebibala, enva endiirwa n’ebirala okuwagira omubiri okufuna obukuumi bw’omubiri obwetaagisa okuziyiza endwadde.

l Ate bw’otuuka okuzaala, genda ew’omusawo alina obukugu y’aba akuzaazisa.

l Wejjanjabise obulwadde oba yifenkisoni yonna eba ekulumbye.

l Olina okuwummulako nga bukyali, totambula hhendo mpanvu era tolina kukola mirimu gikakaalukanya ng’otuusizza okuzaala.

l Weewale okumala gamira ddagala ly’osanze ng’oli lubuto okuggyako eryo omusawo ly’aba akulagidde.

Dr. Bildard Baguma, akulira ekitongole kya JMS bwe yabadde awaayo ebyuma ebyamazeewo obukadde obusoba mu 50, yagambye nti bagenda kusigala nga bakolagana n’eddwaaliro lino okulaba nga basobola okuyamba okukyusa obulamu bw’abaana.

Dr. Tony Tumwesigye, akulira ekitongole ky’ebyobulamu mu kkanisa ya Uganda (Uganda Protestant Medical Organisation (UPMO), yagambye nti Mengo limu ku malwaliro agasinga okulabirira abaana era bagenda kusigala nga bakola ekisoboka okulaba nga lisigala nga liyamba abaana b’eggwanga.

Yeebazizza aba JMS olw’obuyambi buno ng’agamba nti kyakwongera okutuusa empeereza ey’omulembe eri abantu abazeetaaga n’asaba abazadde naddala bamaama okwerabirira obulungi nga bali embuto kuba ebizibu bino ebisinga biva ku buteerabirira bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.