TOP

Ebivaako amabwa g’omu bulago mu bakyala ab’embuto

By Olive Lwanga

Added 18th January 2018

ABAKYALA bangi bwe bafuna embuto bafuna obubonero obutali bumu era obumu bubeera bwa kiseera ate obulala butera okubeerawo okutuusa omukyala ng’amaze okuzaala.

Maternity1 703x422

owoolubuto nga bamukozesa dduyiro

Bya OLIVE LWANGA

ABAKYALA bangi bwe bafuna embuto bafuna obubonero obutali bumu era obumu bubeera bwa kiseera ate obulala butera okubeerawo okutuusa omukyala ng’amaze okuzaala.

Mu bubonero buno mw’otwalira n’amabwa g’omu bulago.

Dr. Resty K. Birungi, ow’eddwaaliro ly’e Lubaga yagambye nti ab'embuto abamu batera okufuna obuzibu bw’amabwa g’omu bulago kyokka nga bambi tebamanyi kizibu kino kwe kiva ate ng’olumu gabeera galuma.

EBIVAAKO AMABWA G’OMU BULAGO MU B'EMBUTO

 Abantu abalina obulwadde bwa asima batera okufuna amabwa g’omu bulago nga balina embuto.

 Olumu kiva ku alaje.

 Okulya emmere oba ebintu ebirimu asidi omungi.

 Olumu kiva ku buwuka obu- sirikitu obuva ku bujama.

 Kitera okuva ku mpewo erimu obucaafu oba ebiragalalagala.

KW’OLABIRA AFUNYE OBUZIBU

1 Ssinga obulumi bwegattamu omusujja obeera olina okulaba omusawo.

2 Amabwa amamyukirivu mu bulago ate nga gazimbye.

3 Okulumwa omutwe.

4 Obuntu obweru mu mimiro.

5 Obunafu n’okubulwa amaanyi.

6 Okukaluubirirwa mu kumira.

7 Okuzimba mu bitundu by’omu bulago

8 Okutuuyana ennyo.

9 Obutayagala kulya

10 Okukolola n’okusinduukirirwa emmeeme.

11 Okukaluubirirwa mu kussa.

12 Okulumwa mu ndira.

Ssinga obubonero bulwawo oba ne bumala essaawa 24 yogera n’omusawo wo akukebere n’okukujjanjaba. Weewale okukozesa ebintu ebinnyogoga ennyo.

Okunyumunguza mu mimiro n’amazzi agabuguma nga galimu omunnyo.

Okukozesa ekinzaali ekiganda n’okiteeka mu mazzi agabuguma kisobola okukuyambako. Okukozesa amajaani aga kiragala.

Okukozesa enniimu mu mazzi agabuguma. Waliyo n’eddagala ly’osobola okumira okusinziira ku biragiro by’omusawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe