TOP

Endwadde z’ekikaba 6 ne bw’oyinza okuzeewala

By Cathy Lutwama

Added 18th January 2018

Obulwadde bw’ekikaba buyitira mu kwegatta n'omuntu abulina bwe muwaanyisiganya omusaayi n’amazzi g'ekyama nga temwekuumye nga mukozesa kondomu.

Kikaba1 703x422

Omusawo Prossy Bulega ng’aggya omusaayi ku mukyala.

Bya RUTH NAZZIWA

Abantu bangi bafuna obulwadde bw'ekikaba ne basirika nabwo ate olw'okuba bukwata mu bifo eby’ensonyi, abasinga tebejjanjabisa bulungi olw'okutya okuswala.

Obulwadde bw’ekikaba buyitira mu kwegatta n'omuntu abulina bwe muwaanyisiganya omusaayi n’amazzi g'ekyama nga temwekuumye nga mukozesa kondomu.

Ate ng’obumu busobola okukwata omwana azaalibwa ssinga nnyina abulina n’atuuka okuzaala nga teyeetangidde kumusiiga.

Endwadde omuli: siriimu, obulwadde bw'ekibumba, nkumuunye, kabootongo, enziku, embaluka n'endala zonna za bukaba era za bulabe.

Grace Babirye Nambogga mutuuze w’e Kirangira agamba yalumwako obulwadde bw’ekikaba era annyonnyola bwati: “Nasooka kuwulira kusiiyibwa mu mbugo ate nga bwe ndwawo okunaaba kiyitirira, nga nfuna amabwa ate ng'oluusi wazimba ne binsobera.

Osanga sandituuse ku ekyo, naye nasooka ne ntya okugenda mu ddwaaliro nga saagala kusitamira basawo mu mbeera gye nalimu.

Bannange be nanyumizaako bahhamba nti, nnina kabootongo ne bandagirira okunywa kamunye nti abyozaamu ne mmunywa buli lunaku naye nga siwona.

Mbeera nkyali kw’olwo ate ne nfuna obutulututtu nga bunsiiwa ate bwe ntakulawo, wafuuka mabwa nga gannuma nnyo olwo kwe kugendako mu ddwaaliro. Bwe bankebera bangenamba nti, nnina kabootongo ne bankuba empiso okutuusa lwe nazimalayo naye nga ziruma okufa naye ne mpona.

Wabula bwe waayitawo ekiseera ate ne bukomawo, ne ntandika okubundula amazzi ate nga mangi, kwe kugendako mu kalwaliro ne ngula eddagala lye namira ku luli naye ne ntereera kyokka nga bwe wayitawo ebbanga ate nga nziramu okufuna obubonero bwe bumu okutuusa lwe nawulira nga sikyasobola kukyebeera.

Nali nfuka omusulo nga gumbalagala nnyo nga njula kutonnyeza maziga kwe kugamba baze.

Twesitula lumu ne tugenda mu ddwaaliro e Lubaga ne batukebera omusulo n’omusaayi ne bakizuula nga nnina yinfekisoni ne batujjanjaba era kati omwaka guweze ng’obulwadde buno tebukomangawo,” Nambogga bwe yamalirizza.

Dr. Godfrey Ssekabira, okuva mu Buyege Health Centre 1V yagambye nti, tewali muntu ayagala kukwatibwa bulwadde bwa kikaba ate oluusi tosobola kumanya nti obulina okuggyako nga weekebezza.

Kirungi omuntu okulowooza ku kwekebeza endwadde z’ekikaba kimusobozese okumanya bw’ayimiridde n’okuziyiza okubusaasaanya.

Omulundi gumu gwe weegatta n’omuntu alina obulwadde buno awatali kwetangira kukwatibwa, gukumala okukwatibwa obulwadde bw’ekikaba.

 mukyala nganywa amazzi ano malungi kuba gooza obuwuka obubeera mu muwaatwa omuyita omusulo Omukyala ng’anywa amazzi. Gano malungi kuba gooza obuwuka obubeera mu muwaatwa omuyita omusulo.

 

Ezimu ku ndwadde ezisinga okukwata abantu mulimu:

1 Obulwadde bw'ekibumba (Hepatitis B): Osobola okubufuna ssinga weegatta n’omuntu abulina naddala nga waliwo okukwatagana kw'omusaayi.

Obulwadde buno bukwata mangu era nga bukubisaamu emirundi 10 n’okusinga akawuka ka siriimu kubanga bubeera bungi mu musaayi.

Ettondo ly'omusaayi bwe likugwako, obuwuka obulimu bulwawo okufa ate bwalula mangu. Obuwuka buno bwe buyingira omubiri, bukwata obutoffaali bw’ekibumba ne kirwala ne kifuna enkovu nga tekikyasobola kukenenula butwa mu mubiri.

Omuntu alina obulwadde buno omulabira ku kuzimba olubuto nga wano omuntu abeera atuuse ku mutendera ogwokusatu ekivaamu ng’afuuka kookolo w'ekibumba.

Obulwadde bugemebwa, weekebeze bw’oba tobulina bakugeme okubwetangira.

2 Kabootongo: Obulwadde buno butambulira mu mitendera era bwe bukukwata, ofuna obubwa nga tebukuluma mu bukyala oba ku busajja kungulu.

Naye bwe wayitawo emyezi mukaaga nga tofunye bujjanjabi, bugenda ku mutendera ogwokubiri. Obutulututtu bufuuka bungi naye era nga tebuluma ne ku mutendera ogwokusatu.

Wabula bw’otejjanjabisa, osobola okubusiiga abalala n'omwana ali mu lubuto ssinga obeera olulina mu bakyala.

3 Akawuka ka siriimu: Bw’ofuna siriimu, oyinza n’okumala omwaka nga tokimanyi naye kiba kirungi okwekebeza okumanya bw’oyimiridde naddala nga mwakeefuna oba ng'oli lubuto.

Obumu ku bubonero kwomanyira nti olina akawuka ka siriimu, oyinza okufuna omusujja ogw’olutentezi, okunafuwa omubiri, okufuna amabwa olutata, akafuba n'ebirala.

Wabula obubonero buno n'abalina endwadde endala babufuna era y'ensonga lwaki olina okwekebeza kikusobozese okumanya ekituufu ky’oli.

Bwe kizuulibwa ng’olina akawuka ka siriimu, otandike obujjanjabi ate bwe kizuulibwa ng'oli mulamu, oyongere okwekuuma nga weekuumira omwagalwawo omu yekka, ng’okozesa kondomu oba okuva ku by'okwegatta.

4 Ekinaanansi: Ekinaanansi kikwata abakyala n'abasajja era nga mu basajja tekitera kugejja nnyo nga bwe guba mu bakyala. Obulwadde buno butambuzibwa obuwuka obusirikitu era nga bwegiriisiza nnyo mu bantu abalina akawuka ka siriimu.

5 Nkumuunye: Buno tebutera kulabikalabika mu bantu naye nga bwe bukukwata, ofuna obutulututtu bungi nga bunene n'amabwa n’okulumizibwa kw’ensanjabavu.

6 Enziku: Omukyala kiyinza okumutwalira emyezi mukaaga nga tamanyi nti agirina oluusi n’awona kuba omubiri gubeera n’obusobozi okubulwanyisa ekitali ku basajja. Mu basajja, kimutwalira ennaku ssatu zokka okumanya nti abufunye. 

Olw’okuba oluseke lw'abasajja olutambuza omusulo luwanvu, obuwuka bufuna we bwekweka ne butandika okulya ekireeta amabwa n'amasira. Omusajja alina enziku afuna obulumi bungi ng'afuuyisa, okufuka amasira n'ebirala.

Obulwadde buno bwangu okujjanjaba ng’ogenze mu ddwaaliro, naye bw’olwawo okwejjanjabisa, osobola okuziba oluseke ng'omusulo tegukyasobola kuyitawo.

ENDWADDE Z’EKIKABA MU BAANA

Abaana abamu bazaalibwa n’endwadde z'ekikaba nga siriimu, kabootongo, obulwadde bw'ekibumba n'endala. Omwana azaalibwa n’obulwadde bw'ekikaba atera okubeera n'amaaso amalwadde.

Abaana abalala bafuna endwadde z'ekikaba olw’abantu abamu abakulu okubazannyiikiriza mu ngeri y’okubakabawaza. Batera okufuna olusujjasujja, okumenyekamenyeka mu nyingo, okusiiyibwa mu mbugo, okufuna obutulututtu n'amabwa.

Mutwale mu ddwaaliro amangu ddala ng’olabye akamu kububonero buno bamujjanjabe. Kiki ekivaako obulwadde bw ’ekikaba obutaw ona? Dr. Ssekabira annyonnyola nti: Obutamalaayo ddoozi n’obutamira ddagala mu budde.

 race ambogga Grace Nambogga

 

Okugabana eddagala ekitta ddoozi.

  • Komya omuze gw'okugabana ebikozesebwa mu kunaaba naddala mu bitundu by’ekyama ng'ebbaafu n'abaana, okuziyiza okufuna endwadde z'ekikaba.
  • Okwettanira okukozesa kondomu naddala nga tosobola kukyewala. Ate bw’ogenda mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi, kakasa nti n’omwagalwawo omujjanjabisa muleme kuddamu kwesiiga.
  • Amangu ddala ng’ofunye obumu ku bubonero bw’obulwadde buno, genda mu ddwaaliro bakukebere kikusobozese okufuna obujjanjabi obutuufu.
  • Ate bwe kizuulibwa nga tobulina, osobola okubwegemesa naddala obw'ekibumba oba yongera okwekuuma ng’omusawo bw’aba akulagidde.
  • Bangi olufunamu olungubanguba nga balivaako ekireetera obuwuka okuzuukuka ne bujooga omubiri ate ne bukuddamu oba okufuna akatogo k’endwadde. Nneetangire ntya obulwadde bw ’ekikaba?
  • Sooka weekebeze omanye bw’oyimiridde, bwe kizuulibwa ng'olina obumu ku bulwadde bw’ekikaba wejjanjabise okutuusa lw’owona.
  • Weewale okwewa eddagala naddala omusawo lyatakulagidde kuba kikonya obulwadde.
  • Olina okwettanira okwekuumira omwagalwa wo omu yekka, okwewala omuze gw’okwegatta ng'okyali muto oba nga tonnafumbirwa.
  • Mu baana, omukyala ow’olubuto olina okwejjanjabisa endwadde z’ekikaba ne ziwona obutasiiga mwana ali mu lubuto.
  • Nyiikira okunywa amazzi kubanga okubeera kw’amazzi mu mubiri, kiyambako mu kutambuza eddagala n’ebirungo ebikola ku bulwadde mu mubiri. Ate buli lw’ofuuyisa kiyamba okwoza obuwuka obubeera mu muwaatwa omuyisa omusulo ne bufumuma omubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko