TOP

‘Embalabe gye natakula katono enkutuleko ennyindo’

By Ruth Nazziwa

Added 25th January 2018

“Natakula embalabe naye endeetede obulemu mu maaso bwe saazaalibwa nabwo kuba sisigazza nnyindo,” Micheal Jjagwe,30, ow’e Buzimba, Kanoni - Gomba bw’atandika okulojja.

Embalabe1 703x422

Jjagwe ng’akutte ku nnyindo eyeerya olw’embalabe.

Bya RUTH NAZZIWA

“Natakula embalabe naye endeetede obulemu mu maaso bwe saazaalibwa nabwo kuba sisigazza nnyindo,” Micheal Jjagwe,30, ow’e Buzimba, Kanoni - Gomba bw’atandika okulojja.

Mu mwezi gw’omwenda 2017, nafuna akabalabe mu nnyindo munda era saasooka kugifaako kubanga nateranga okuzifuna naye nga buwona bwokka.

Naye kaatandikiriza mpola okugejja nga kantujja n’okunnumisa omutwe, kwe kumira eddagala nga mpulira ndi bubi naye nga keeyongera kugejja ekyampaliriza okukatakula era wano we waava kanaaluzaala.

Mu wiiki bbiri nali sikyassa bulungi ne ngenda mu ddwaaliro e Kanoni omusawo n’azibukula ennyindo n’aggyamu obucaafu n’ampa eddagala okumala ennaku ttaano, naye ebbwa lyeyongera kusima.

Nagenda mu ddwaaliro e Nkozi gye nava ne nneeyongerayo e Kitovu abangamba okunnongoosa ne siddayo.

Nalowooza nti olumbe lwa kinnansi era ne nzirukira mu bajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi. Oluvannyuma kwe kutwalibwa e Mulago.

E Mulago, bansalako akanyama emirundi ebiri naye nga tebalina kye balaba ate nga si kookolo ne mmanya ekyo nkiwonye.

Wabula bwe baagamba okuddamu okunsalako akalala nagaana olw’obulumi. Ennyindo yeeyongera okuleenya ng’evulula n’okwerya okutuusa lwe twafunye omusawo omulala anzijanjaba.

Naye bwe wabaayo omusawo amanyi obulwadde buno era ng’asobola okujjanjaba enyindo yange n’ewona oba omuntu yenna asobola okunnyamba, obuyambi asobola okubuyisa ku: A/C No 217200000002 mu Finance Trust Bank ngeri mu mannya ga Tony Maziba oba ku nnamba z’essimu 0772423707 oba 0757869458 nga nazo ziri mu mannya ge gamu.

Dr. Justine Namwagala, omukugu mu kujjanjaba endwadde z’ekiwanga era akulira ekitongole kino ku yunivaiste e Makerere yagambye nti okufuna embalabe kiringa ekintu ekitono kuba zisobola okukwata ekitundu ky’omubiri kyonna, wabula zettanira mu maaso, mu mugongo ne mu kifuba kubanga by’ebifo ebisinga okufulumya woyiro.

Ssinga ofuna embalabe n’eyingiramu obuwuka, osobola okufuna yinfekisoni mu kitundu ekyo naye nga zisobola okugenda zokka ssinga ozirabirira bulungi oba okwejjanjabisa ng’obuwuka tebunnaba kusaasaana.

Ebivaako embalabe

Olususu lwonna lujjudde obutuli okusibuka obuviiri, era nga mwe muyita woyiro ayamba okulunyiriza n’enviiri.

Wabula oluusi obutuli buno buyingiramu obucaafu n’olususu olukaddiye ekibuzibikira n’ekivaamu kusikiriza buwuka n’ofuna yinfekisoni.

Embalabe bw’eyingiramu obuwuka esaka amasira n’ezimba, etandika okuluma, okutujja n’okulumisa omutwe n’oluusi oyinza okufuna omusujja.

Obeera tolaba bulungi, ofuna kammunguluze n’amaaso okukuluma oba okukutujja nga toyagala na kugikwatako.

Tokuula bwoya bwa mu nnyindo

Okufuna embalabe z’omu nnyindo oluusi kiva ku kukuula bwoya mu nnyindo, okunyiza ennyo n’okuzisokoola olutakoma.

Wabula embalabe y’omu nnyindo nzibu okujjanjaba naddala nga yayingiddemu obuwuka era ebeera ya bulabe nnyo eri obulamu bwo kubanga ennyindo erimu obusuwa obugenda ku bwongo.

Mu ngeri y’emu, weewale okunyiga embalabe ezimera wakati w’ekyenyi n’okukkirira ku kalevu kubanga ekitundu ekyo kirimu emitunsi egikwatagana n’obwongo.

Laba omusawo ssinga, ofuna embalabe mu maaso oba mu nnyindo nga tolaba bulungi oba ng’ekintu ekimu okirabamu ebintu bibiri.

Bw’ofuna kammunguluze, ekitundu weekukutte wamyukirivu, wazimbye, wakuluma nnyo oba wayiye obutulututtu obuluma. Bw’ofuna omusujja.

Obujjanjabi bw’embalabe

Dr. Namwagala annyonnyola nti, ebiseera ebisinga embalabe bwe zikukwata ziwona zokka era n’enzijanjaba y’embalabe z’omu nnyindo esinziira ku kizireese.

Bwe ziba zaayingiramu obuwuka, bazijjanjaba n’eddagala eritta obuwuka ng’omusawo bw’aba asazeewo oba okukulongoosa nga yinfekisoni ya maanyi ne baggyamu amasira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...