TOP

Bankebera nga sirina buzibu naye okuzaala kugaanye

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2018

Christine Bayiga 32, bwe yamaliriza okusoma Mukama yamuyamba n’afuna omulimu era akola, wabula wadde ssente azifuna tazisanyukiramu olw’okubulwa omwana.

Boil1 703x422

Emmere eteri nsiikesiike nnungi ku mukyala ayagala okufuna olubuto.

Bya OLIVE LWANGA

Christine Bayiga 32, bwe yamaliriza okusoma Mukama yamuyamba n’afuna omulimu era akola, wabula wadde ssente azifuna tazisanyukiramu olw’okubulwa omwana.

Annyonnyola by’ayiseemu: Namaliriza emisomo ku yunivasite ne nfumbirwa baze kyokka essanyu mu bufumbo limbuze lwa kunoonya mwana n’abula kati emyaka mwenda kyokka nga sikozesangako nkola yonna ey’okwegema okuzaala.

Ntambudde mu malwaliro ag’enjawulo, nkozesezza ssente ze simanyi muwendo. Nalowoozaako nti oba baze y’alina ekizibu ne tugenda mu ddwaaliro nga bagamba nti ffenna tuli bulungi era tusobola okuzaala.

Sirina kkanisa oba ssinzizo gye situuse naye sinnafuna. Obufumbo bwange kati buyuuga kuba n’olumu baze annangira obugumba n’okunsindika ewaffe nneetereeze. Kye ndiko kyokya naye simanyi kinnemesezza kuzaala,” Bayiga bw’amaliriza.

Dorothy Nalumansi e Masanafu yagambye nti edda abaana abawala tebaakaluubirizibwanga nnyo na kufuna mbuto kubanga n’ebintu bye baalyanga byabeeranga birungi eri emibiri gyabwe.

Ekirala baakuumibwanga bulungi nga si kyangu kya kusanga aggyamu mbuto. Baabulirirwanga okukuuma obuyonjo ekyabaziyizanga okulwala endwadde naddala ezikosa ebitundu ebizaala eziva ku bujama.

Obwongo bukulu mu kuzaala Dr. Emmanuel Bukalu, omukugu mu kujjanjaba endwadde z’abakyala yategeezezza nti, okufuna olubuto kutwaliramu abantu babiri omwami n’omukyala era tosobola kunnyonnyola buzibu bulemesa bakyala kufuna mbuto nga weesigambye ku mukazi yekka.

 alumansi ngannyonnyola Nalumansi ng’annyonnyola

 

Era kutwaliramu ebintu ebikulu bina omuli: obwongo, amagi, enseke ne nnabaana. Ssinga ekimu ku bino kibaako obuzibu kiba kitegeeza nti omukyala ajja kukaluubirirwa okufuna olubuto.

1 Ssinga obwongo bw’omukyala bubaako obuzibu, tasobola oba akaluubirirwa okufuna olubuto kuba bwe busengejja empulirizo z’omubiri ne zicamula oba okutumbula ensawo omubeera amagi ne gasobola okufuluma n’okutambula wamu n’okwekolera empulirizo zaago ekitasoboka nga buliko obuzibu.

2 Okwegatta kati kutwalibwa ng’ekintu eky’okusaaga mu bantu. Osanga omwana nga wa myaka 16 naye nga yaakaggyamu embuto eziwera omukaaga ate abamu mu kikolwa ky’okuggyamu olubuto bafunirayo yinfekisoni ku nnabaana oba ku mumwa gwa nnabaana ekikendeeza ku mikisa gyabwe egy’okufuna olubuto. Abalala mu kuziggyamu ne baggyamu akabubi okwekwata omwana nga ne bw’oba waakulufuna omwana tabeeramu.

3 Ssinga ensawo ebaamu amagi ejjula ebizimba, omukyala aba tasobola kufuna lubuto.

4 Waliwo omubisi ogubeera mu basajja wabula nga n’abakyala abamu bagufuna, guno bwe gusukka obungi mu mukyala kiba kibakaluubiriza okufuna olubuto. Kw’olabira abakyala bano, kwe kumera ebirevu, ebyoya mu kifuba n’embeera z’ekisajja endala.

5 Abasajja abamu tebalina nkwaso oba okubeera n’entono oba nga nnafu nga tezisobola kutuuka ku ggi lya mukyala kumufunyisa lubuto.

6 Abamu kiva ku yinfekisoni ez’enjawulo ezibeera mu mubiri nga tezijjanjabiddwa mu bwangu eziremesa omukyala okufuna olubuto.

7 Ssinga asidi alina okubeera mu mubiri gw’omukyala akendeera nnyo nakyo kiremesa omukazi okufuna olubuto ng’enkwaso z’omusajja bwe zijja zifa bufi.

8 Ssinga omukyala aba n’omumwa gwa nnabaana nga tegwakula bulungi oba nnabaana eyatunula emabega kiba kizibu omukyala okufuna olubuto okugyako nga bamutereezezza.

9 Abamu ebika by’emmere bye balya bibalemesa okufuna olubuto naddala ebintu ebisiikesiike.

10 Abamu omugejjo gwe gubalemesa okuzaala ate abalala babeera batono ekivaako omubiri obutakola bulungi magi.

11 Abakyala abamu balina obuzibu ng’amagi gaabwe tegatambula bulungi kusobola kusangibwa nkwaso mukyala kufuna lubuto.

Ekirala, abamu tebalina mpulirizo ekuza amagi ekibakaluubiriza okufuna olubuto. Ate n’empulirizo eyaluza amagi oluusi nayo ebeera ntono ekikosa omukyala.

12 Olumu embeera mwe tubeera oba ebifo we tukolera nabyo bikaluubiriza abakyala abamu okufuna embuto olw’omukka ogujjudde obutwa oluusi ebbugumu erisusse ekikosa omubiri ne kiremesa omukyala okufuna olubuto.

13 Abasajja abamu babeera n’ebizimba ku ntula zaabwe ne kibalemesa okufunyisa abakyala embuto.

14 Abamu balina kookolo mu bisawo omubeera ensigo kino nakyo ekikaluubiriza omusajja okufunyisa omukyala olubuto.

15 Abamu enseke ziba zaazibikira. Nalumansi ng’annyonnyola

16 Olw’obulwadde obutali bumu nga sukaali.

17 Abantu abamu naddala abayizi ba yunivasite beemanyiiza okukozesa eddagala eriziyiza okuzaala ekisusse ne batuuka okwagala okuzaala nga baafuna ekizibu okuddamu okuzuukusa amagi.

Ky’olina okukola

  • Okwewala okukozesa ebiragalalagala n'ebitamiiza ebirala.
  • Okulongoosebwa naddala ababeera n’ebizimba.
  • Okugera ekiseera ekituufu eky’okwegattiramu naddala ng’eggi lisembedde.
  • Okwejjanjabisa endwadde naddala ezirumba omubiri mu budde naddala ez’obukaba ate n’okukuuma obuyonjo.
  • Okuzibukula enseke eziba zaazibikira omukyala n’asobola okufuna olubuto.
  • Okugenda mu kikolwa nga mukkakkanye era ng’obwongo buli wamu okusobozesa obusimu bw’omubiri okubeera ku kikolebwa mu budde obwo.

 

 aria antume Maria Nantume

 

Navangamu embuto nga simanyi wava buzibu

Mbeera Mpigi era nafumbiriganwa ne baze era oluvannyuma lw’omwaka gumu ne nfuna olubuto olwasooka, wabula bwe lwaweza emyezi musanvu ne lutandika okutabuka era okukkakkana ng’omwana anfiiridde munda.

Bwe natuuka mu ddwaaliro bankebera omusawo n’ahhamba nti omwana yanfiiridde munda. Yahhamba nneetegeke kuba omwana nalina okumusindika nga tebansaze era banteekako eccupa z’ebisa n’afuluma mufu.

Waayita ebbanga ttono ne nfuna olubuto olulala. Ku mulundi ogwasooka tebambuulira nsonga yavaako mwana kunfiira munda.

Nakyusa eddwaaliro nga ndowooza kirabika abasawo be baalagajjala. Ono Katonda yannyamba n’atuusa emyezi mwenda ne mmuzaala bulungi, wabula waayitawo essaawa ntono naye n’afa.

Nafuna olubuto Olwokusatu naye bwe lwali luweza emyezi esatu nalwo ne luvaamu, ku mulundi guno baasalawo okunjoza mu lubuto ne bakakasa nti buli kimu kiri bulungi era omusawo n’ankakasa nti nja kuddamu nfune olubuto. Naddamu ne nfuna olubuto naye nga buli lwe ndufuna nkyusa omusawo.

Nanoonyanga abasawo abakola ku nsonga z’abakyala abasinga obulungi ne njogera nabo nga sinnafuna lubuto ne ntambula nabo okutuusa lwe nzaala oba olubuto lwe luvaamu nga bwe kyateranga okuba.

Ku mulundi guno nagenda ew’omusawo omulala omukugu mu nsonga z’abakyala mu ddwaaliro erimu eddene era n’ankebera n’ahhamba nti kisoboka okuba nga nnabaana wange munafu tasobola kuwanirira mwana era n’asalawo okunsibako akaweta era yasooka kunsirisa, wabula mu kukaggyako owulira era obulumi nga bw’amaanyi.

Naddamu ne nfuna olubuto olulala naye bwe nalufuna saddayo wa musawo gye bansibira akaweta kubanga yali wala ate nga wa ssente nnyingi ne ndaba omulala eyangamba nti kyali tekyetaagisa kunsiba nnabaana.

Ku myezi etaano ensundwe yayatika era abaana abaali abalongo baavaamu balamu kyokka nga tebasobola kuwona.

Okusoomoozebwa kwali kunene wabula saava ku Katonda, naddamu ne nfuna olubuto olulala wabula ku myezi mwenda yali munene ne basalawo okunnongoosa, wabula nagenda okudda engulu ng’omwana aliku kyuma kya ‘Oxygen’ ng’atandise n’okufuuka kyenvu.

Abasawo bansaba mmusse ku bbeere naye waayitawo akaseera katono n’atandika okuvaamu ejjovu era n’anfiira mu ngalo.

Omusawo omu yampa amagezi nti bwe nziramu okuzaala omusaayi gw’omwana bagukyuse bamuwe omulala. Abalala baatuwa amagezi twawukane ne baze kubanga kiyinzika okuba ng’omusaayi gwaffe tegukwatagana nga tetusobola kuzaala baana ne balama.

Ebigambo byayogerwa bingi, naye tetwaterebuka. Nakozesa buli kika kya ddagala nga n’ery’ebikoola mw’olitwalidde kuba bahhamba nti nnina nabbuguma.

Lwali lumu nga nabivaako dda, Mukama n’anziriramu ne nfuna olubuto era ne nnegendereza okutuusa lwe bannongoosa ng’omwana mulamu era ne nnyongerako abalala babiri ne bankomya era bonna balamu. Maria Nantume (si ge mannya ge amatuufu) bw’anyumya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Myu 220x290

Akatale k’obumyu kagguse

OBUMYU kimu ku bintu ebirimu ssente wabula abalunzi abamu bagenze babuvaako okubulunda olw’akatale akatono bwe...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Golola1 220x290

Golola akoze omubiri n’atiisa abawagizi...

OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola ‘Of Uganda’ kuno okutendekebwa kwaliko kwandimufuula omulema.

Ssape1 220x290

Ab’e Kamuli baliko DPC ow’amasappe...

Naye bw’aba agenda ku mikolo naddala nga guliko abanene alina engeri gye yeesabikamu n’afanaanira ddala Sam Omala...