TOP

Okumanya obungi bw’akawuka mu musaayi kiyamba okukakendeeza

By Ruth Nazziwa

Added 18th March 2018

OKUKEBERA obungi bw'akawuka ka siriimu akali mu musaayi emu ku ngeri eziyambako okulondoola omuntu ali ku ddagala eriweweeza erya ARV.

Webomusawongakeberaomusaayimulaabuokulabaobungibwakawukakasiriimuakalimu1632018cmyk 703x422

Omusawo ng'akebera omusaayi okulaba obungi bw'akawuka obulimu.

 

DR. Yvon Karamagi, akulira eby’obujjanjabi ku ddwaaliro lya Mildmay Uganda yagambye nti ssinga ebivaamu biraga ng'akawuka kakendedde mu musaayi oba nga tekalabika, kitegeeza eddagala ly’omira likukolako bulungi oba nti obadde olimira bulungi.

Wabula ssinga ebivaamu biraga ng'akawuka tekakendeera, kiraga nti tolimira bulungi ekiyinza okuvaako akawuka obutawulira ddagala.
Mu mbeera eno, abakugu bongera okukwekenneenya n’okukubudaabuda ne bakukyusiza ekika ky'eddagala oba okukuzza ku mutendera oguddako.

Ekyuma ekikozesebwa okukebera omusaayi oguggyibwa ku bantu kisobola okukola ku gwa bantu 96 mu ssaawa ttaano era olunaku eddwaaliro lya Mildmay Uganda lyekenneenya omusaayi gw’abantu 120.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...