TOP

Tetukyalina baana bazaalibwa na kawuka akaleeta siriimu

By Ruth Nazziwa

Added 18th March 2018

EDDWAALIRO lya Mildmay Uganda lituuse ku buwanguzi bwa bamaama okuzaala abaana abatalina kawuka ka siriimu oluvannyuma lw’okunyiikira ku nkola ya bamaama okutangira okusiiga abaana baabwe nga bali mu lubuto, mu kuzaala ne bwe babeera bazadde.

Teribaanabakwatibwakawukakumildmay 703x422

Omukyala ow'olubuto

EDDWAALIRO lya Mildmay Uganda lituuse ku buwanguzi bwa bamaama okuzaala abaana abatalina kawuka ka siriimu oluvannyuma lw’okunyiikira ku nkola ya bamaama okutangira okusiiga abaana baabwe nga bali mu lubuto, mu kuzaala ne bwe babeera bazadde.

"Okuva mu mwaka 2014, tewali maama azadde mwana alina akawuka akaleeta siriimu mu ddwaaliro lya Mildmay Uganda. Enteekateeka y’okulaba nga tuyamba bamaama okutangira okusiiga abaana baabwe akawuka ka siriimu yatandika mu 2014, era tugifunyeemu obuwanguzi nga mu kiseera kino, tetukyalina mwana azaalibwa ng'alina akawuka," Dr. Violette Nabatte omusawo w'abaana mu ddwaaliro lya Mildmay Uganda bwe yategeezezza.

Dr. Nabatte yannyonnyodde nti, obuwanguzi buno buvudde mu kukolera awamu okulaba nga bamaama abali embuto bamira bulungi eddagala lyabwe akawuka ne katuuka nga tekakyalabika mu  musaayi. Maama ono watuukira okufuna olubuto ng'akawuka kanyigiriziddwa ekikendeeza ku mikisa gy’okukasiiga omwana.

Era twongera okulondoola  bamaama bano ne tukakasa nti bajja okunywa eddagala, era tunnyikiza okusomesa kwonna kwe tubawa okulaba nga tufuna omwana omulamu.

Tubakubiriza okuzaalira mu malwaliro awali abasawo abamanyi eky’okukola okulaba ng'omwana ataasibwa mu kuzaalibwa. Ate omwana oluzaalibwa, tumuwa eddagala lya Nevirapine erimutangira okufuna akawuka mu bbanga erisooka okumala wiiki mukaaga n’abamu batuusa wiiki 12  nga bwe twongera okubalondoola.

Mu ngeri y'emu, tutambulira wamu nabo okulabirira omwana waffe, okuddamu ebibuuzo bya bamaama, okubasomesa ku ndiisa y'omwana n’okupima omwana okulaba nga tukuza omwana atalina kawuka kaleeta siriimu.

Enkola eno ssinga essibwaako essira ejja kuyamba mu kumalawo akawuka ka siriimu mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...