TOP

Aba sikoseero bafunye ekyuma ekinaabayamba okukyusa omusaayi

By Olive Lwanga

Added 18th March 2018

Ekitongole kya Joint Clinical Research Centre (JCRC) batongozza ekyuma ekiyitibwa Apheresis Machine ekigenda okuyambako mu kujjanjaba obulwadde bwa sikoseero n’endwadde endala ezeekuusa ku musaayi.

Machine1web 703x422

Micheal Tumusiime (ku kkono) omu ku basawo abanoonyereza ku JCRC ng’annyonnyola engeri ekyuma kya Apheresis Machine gye kikolamu.

 

Dr. Cissy Kityo yagambye nti, ekyuma kino kirina enkola  eyitibwamu okuggya omusaayi mu mubiri gw’omuntu ne guyita mu nseke ezikisibiddwaako ne kisobola okugwawulamu ebyo ebikulu abasawo bye beetaaga mu musaayi ogwo olwo ebisigadde ne biddizibwa mu mubiri gw’omuntu.

 

Yannyonnyodde nti, ekyuma kino kyakuyambako ku bantu abalina obulwadde bwa sikoseero, okusannyalala okw’amaanyi, abalumizibwa mu kifuba, abalina ebitundu by’omubiri ebiremeddwa okukola obulungi n’ebirala.

 

“Ensonga lwaki tukozesa ekyuma kino, kubanga twagala okuggya obuwuka obutali bumu mu musaayi era omusaayi gulimu ebintu ebiwerako ebibeera byawulwamu n’ekyuma kino okuli: obutoffaali obweru, obutoffaali obumyufu, oluzzizzi olweru olusangibwa ku musaayi n’obutoffaali obuyamba omusaayi okwekwata ne gulema kufuluma mangu ssinga omuntu aba afunye ekiwundu,” Dr. Kityo bwe yannyonnyodde.

 

Amyuka omukulu w’ekitongole kya JCRC, Dr. Francis Ssali yagambye nti  ku bulwadde bwa sikoseero bagenda kukikozesa okuggya obutoffaali obufu mu mulwadde nga bamuteekamu obutoffaali obulala obutalina kawuka ka sikoseero.

 

“Ekyuma kigenda kuyambako mu kwongera okutumbula okunoonyereza ku kawuka ka siriimu naye tekiwonya siriimu.

Omuntu omulamu asobola okujja n’atuwa omusaayi ne tugukozesa okuguwa oyo alina obulwadde bwonna obwekuusa ku musaayi n’afuna omulamu ne tumuggyamu ogulimu obulwadde ne kimusobozesa okuwangaala nga talwalalwala. 

 

Obulwadde bw’omusaayi nga kookolo w’omu musaayi, sikoseero, siriimu n’endwadde endala ez’amaanyi.

 

Era amalwaliro gonna n’abantu bakimanye nti ekyuma kino ku JCRC weekiri nga tekikyetaagisa bantu kugenda bweru wa ggwanga kukyusa musaayi na butoffaali.

 

Bino byabadde ku kitebe kya JCRC ekikulu e Lubowa ku Lwokuna.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Illegalgears6 220x290

UPDF ekutte 17 abeenyigira mu nvuba...

AMAGYE ga UPDF gagenze mu maaso n'okukola ebikwekweto ku nnyanja Nalubaale mwe bakwatidde abantu 17 ababadde beenyigira...

421977467557107247997131145953289536274432n 220x290

Bobi Wine ayogeza maanyi

NGA yaakatuuka mu maka ge e Magere, yayogezza maanyi wakati mu bikumi n’ebikumi by’abawagizi be abaakuhhaanye okumukulisaayo...

Funa 220x290

Bobi Wine alangiride ekiddako

ENKAMBI ya Bobi Wine erangiridde nti erumba Masaka ekube olukung'aana olw’amaanyi okunnyonnyola abantu ku biriwo...

Sheeber 220x290

Sheebah Karungi akutudde ddiiru...

OMUYIMBI Sheebah Karungi oluvudde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde akubira abaayo omuziki atuukidde mu kukutula...

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi