TOP

Katonda mumusabe nga bwe mukuuma obuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2018

Okusaba Katonda okukuziyiza n’okuwonya endwadde ng’obuyonjo bukulemye okukuuma kubeera kumala biseera.

Kuyonjakawempeweb 703x422

Muhamood Mutazindwa, Loodi kansala wa Kawempe North (okuva ku ddyo) n’abatuuze mu kulongoosa e Kawempe.

 

Bya Ivan Sserwadda

Abakulembeze mu kitundu ky’e Kawempe  bakubirizza abatuuze mu Zooni ya Kiganda, Kawempe ll, Kazo - Angola ne Katale okukuuma obuyonjo okusobola okulwanyisa endwadde eziva ku bujama ezibatawaanya.

Loodi kansala owa Kawempe North, Muhamood Mutazindwa, omusumba w’ekkanisa ya Kawempe Worship Centre  Robert Kasozi ne Loodi kansala owa Makerere Solomon Mayanja be baakulembedde kaweefube w’okulwanyisa endwadde mu bitundu bino.

 Enteekateeka eno yaakubeerangawo buli wiiki esembayo mu mwezi n’ekigendererwa ky’okubeera n’abantu abalamu. Endwadde ezisinga okutawaanya abatuuze mu kitundu kino gwe musujja gw’ensiri n’ekiddukano mu baana,

Wabula baavumiridde abatuuze abayiwa kasasiro mu bitundu bino ate obuteenyigira mu kuyonja ne basigalira okubatunuulira nga balongoosa ekyabatiisizza nti bandiremererwa okukuuma obuyonjo nga balinda abagenyi okubalongooseza.

Yabakubirizza okusaba Katonda nga bwe basitukiramu okweyonja nga lwe baneegobako endwadde. “Musabe Katonda nga bwe mukuuma obuyonjo okusobola okweziyiza endwadde”, omusumba Kasozi bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda