TOP

Endwadde eziva ku butayoza pajama

By Musasi wa Bukedde

Added 7th April 2018

Endwadde z’obujama bangi bazirowooleza ku byakulya na kunywa byokka, wabula n’obuwale obusooka ku mubiri bwa bulabe mu kuleeta endwadde ssinga tebulabirirwa bulungi.

Webpyjam 703x422

Obuwale bw'abasajja obwanikiddwa oluvannyuma lw'okubwoza

Bya IVAN SSERWADDA         

Obuwale obusooka ku mubiri (buyite pajama), bwa bulabe eri ebitundu by’omubiri naddala ebitundu byekyama, ssinga omuntu abwambala tabwoza na kubulabirira bulungi okuziyiza endwadde.

Endabirira yaabwo etwaliramu okubwoza ne butukula bulungi, okubwozesa amazzi amayonjo n’okubwanika ne bukala.

Dr. F. Ronny Ssenabulya okuva mu ddwaaliro ly’e Komamboga,  annyonnyola nti bwe buba tebuyonjeddwa, buleeta endwaddwe okuli: kookolo w’omumwa gwa nabaana mu bakyala, okuzimba ebitundu ebyekyama, okubutuka okwetooloola ebitundu byekyama, okusiiyibwa, okulwala mu ndira n’okufulumya amazzi agawunya.

Ate mu basajja, babutuka okwetooloola obusajja, okusiiyibwa ku mumwa gw’obusajja n’okubaleetera olusu.

Dr. Ssenabulya agamba nti omukyala ateekeddwa okunaaba emirundi ebiri olunaku nga buli lw’anaaba akyusa akawale. Emirundi gino, kwe ku makya n’olweggulo, naye bw’aba alinawo obudde, anaabe ne mu ttuntu.

Bw’aba talina budde waakiri anaabeko mu bitundu byekyama mwokka naddala  ng’omusana gwase nnyo kubanga buli lwe gwaka atuuyana nnyo  ekiyinza okumuleetera olusu.

Abasajja nabo bakubirizibwa okwekuuma nga bayonjo nga banaaba ne batukula n’okwoza pajama buli lwe banaabye. Omusajja atali mukomole kimukakatako okulaba  ng’obusajja bwe buyonjo kuba eddiba lyabwo litereka obucaafu bungi ekivaako obuwuka okumulumba n’alwala n’okuvaamu ekisu.

Obuwale obw’omunda bwetaaga ne butungibwa mu lugoye olwa ppamba kubanga teseerera ku mubiri, ekwata entuuyo era ebeera ngumu bw’ogigeraageranya n’ezikoleddwa mu bika by’engoye ebirala.

Wadde ng’abasajja abamu bakozesa bokisa, balina okugoberera byonna owa pajama by’akola. Akawale ak’omunda kasaana kakozesebwe okumala emyezi ebiri eri oyo  alina ez’enjawulo ng’akyusa ate oyo atakyusa esaana agikozese omwezi gumu.

OYOZESA KI?

Akawale ak’omunda tekasaana kwozebwa na sabbuuni ow’amazzi kubanga akolebwa mu bika eby’enjawulo ate nga buli kika kirina omugaso gwakyo. Okugeza waliwo ow’ekika kya jeezi owa kaabuyonjo atateekeddwa kukozesebwa ku kintu kirala kyonna.

Kirungi akawale ak’omunda okukoozesa sabbuuni owabulijjo oba ow’obuwunga kuba akolebwa nga wa ngoye era abeeramu n’akawoowo akakkirizibwa okukozesa ku muntu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.