TOP

Kozesa amazzi amayonjo ogobe omusujja gw’ensiri

By Musasi wa Bukedde

Added 7th April 2018

Okukozesa amazzi amajama kimu ku kisibye endwadde z’obujama mu Bannayuganda naddala abakozesa amazzi g’ebidiba n’emidumu.

Webentemyezeyamira 703x422

Abasuubuzi nga booza bye bakozesa mu mwala

 

Bya IVAN SSERWADDA               

 

Abantu abamu bakozesa buli mazzi ge basanze nga tebamaze kulowooza ku bulabe bugalimu. Abamu bagasena mu bidiba, ku nzizi ezikulukutiramu kazambi okuva mu kaabuyonjo, agava ku kidumu kyokka nga si mafumbe n’amalala.  

Dr. Ronny Ssenabulya ow’eddwaaliro ly’e Komamboga annyonnyola ku ndwadde ez’enjawulo omuntu agozesezza amazzi gano z’afuna.

  1. Bilhazia
  2. Okuvunda mu mpataanya z’ebigere nga kino kivaako okuwunya ebigere.
  3. Omuntu alina amabwa oba ekiwundu asobola okufuna tetenaasi.
  4. Omusujja gw’ensiri
  5. Omusujja gw’omu byenda
  6. Okuddukana
  7. kkolera n’endala

Engeri gy’oziyiza endwadde

  • Kozesa amazzi amayonjo ate nga gafumbiddwa bulungi naddala mu kunywa, okusenya, okwoza ebibala eby’okuliibwa nga bibisi.
 mukyala ngafuka amazzi amayonjo mu kataasa Omukyala ng'afuka amazzi amayonjo mu kataasa

 

  • Okuyiwa woyiro ku mazzi kisobozese okutangira ensiri okwaluliramu.
  • Okukuuma amazzi agakozesebwa nga gasaanikiddwaako bulungi.
  • Okutangira abaana okuzannyira mu mazzi ag’ebidiba.

Musujja gwa nsiri, kuddukana, tetenaasi, amazzi, amayonjo, okuvunda, okuwunya, Dr. Ronny Ssenabulya, Komamboga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi