TOP

Ensenya y'amannyo embi y'esinga okugalwaza

By Benadino Kate

Added 17th April 2018

Engeri gy’olabirira amannyo ekuyamba okugakuuma nga malamu oba okugawummulamu ebituli. Obutamanya kusenya ky’ekisinze okukulwaza amannyo.

Webkasa33 703x422

Omwana ng'asenya amannyo

Bya Benadino Kate

Amannyo kimu ku bitundu ebisinga okuba eby’omugaso ku muntu  naye tetumanyi kugalabirira era y’ensonga lwaki gatulwalako era ne gawanguka ku myaka emimpi.

Dr. Matia Kazibwe, omusawo w’amannyo owa Mengo Dental Clinic agamba nti, ssinga tunaayiga  okusenya obulungi amannyo tujja kusobola okugakuuma nga malamu bulungi.

Ebisinga okwonoona amannyo, y’engeri gye tugasenyaamu eteri ntuufu.

By’okozesa ng’osenya ne bikulwaza amannyo  

1. Ssinga okozesa akasenya nga kakulubuse kyangu okufumita ebibuno ne bivunda ekivaako okulwaza n’amannyo.

 2. Buli lw’okozesa  ebintu ng’omunnyo, omusenyu, sabbuuni  n’evvu, okulubula ekibuno n’amannyo ekivaako oluusi okugaleetamu ebituli olumu n’okulemera mu mannyo ekivaako okusalaasala ekibuno ekireeta amabwa n’okuvaamu omusaayi.

 3. Okumala gakozesa buli ddagala erisenya amannyo. Abantu bangi tebasooka kwetegereza ddagala lye bagula kusenyesa mannyo ate nga balikyusakyusa oluusi ekigakosa kuba erimu libaamu ebiragalalagala ebisusse ku birina okussibwamu.

 4. Okukozesa obuti ku bantu naddala ab’omu byalo bwe bakozesa okusenya mu kifo ky’emiswaki nabwo si bulungi era buleeta amabwa ku bibuno ekivaamu kuvaamu musaayi  era wano kyangu okufunirawo obuwuka  ne buyingira amannyo.

 5. Okugabana emiswaki, kino okusingira ddala kiri mu baana bato. Mu mbeera eno abazadde  mulina okulaba nga mufaayo eri abaana obutakola nsobi egabana busenya kuba kitambuza endwadde z’ebibuno n’amannyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente